24/03/2024
KITALO!
OMUNAIGERIA GWENZIZE NKULAGA ANOONYA OBUYAMBI AKYUSIBWE ENSIGO AFUDDE KU MYAKA 62 EGY'OBUKULU
Ekisaawe kya firimu ezaakazibwako Ekinayigeriakiguddemu ensisi. Kino kiddiridde amawulire g'okufa kwa nnakinku mukuzannya Amaechi Muonagor okusaasaana, Muonagor yazaalibwa mu mwaka gwa 1962 era n'asoma n'akuguka mu by'amawulire nga gano yagakola okutuusa mu mwaka gwa 1989 mu ngeri ya Nnawolovu tafiira ku bbala limu, Muonagor yeeyubula n'afuuka omuzannyi wa firimu omutendeke, era firimu mweyasooka okulabikira yatuumibwa "Hakunatakasi In Taboo 1"
Ono yagenda mu maaso nga bugolo okutuusa lweyazannya firimu kabunamawanga, eno yatuumibwa 2 Rats mweyazannya ne batabani be Aki ne Popo ng'amatuufu Popo ye Osita era ng'amawulire ag'ennaku gano wegagwiriddewo Osita abadde mutaka mu ggwanga lyattu Uganda akyafuuyibwa ku kawewo n'ebyana by'ekibuga Ndibassa Kampala ekisangibwa ku kasozi Kampalabanya akettanirwanga ennyo ensolo Impala mu biseera by'abavumbuzi.
Kitalo nnyo nnyini ddala, gyebuvuddeko John Okafor omuzannyi w'Ebinayigeria era munnakatemba, ennaku yabuutikira bangi olw'omuzannyi w'ebyasa, kyokka nz'ate mwattu Muonagor y'abadde ansingira ku babiri.
Jjuuzi nnasinziira ku mbeera mw'abadde ng'alaajanira abazirakisa okumuyamba n'ensimbi ezikyusa ensigo, nnababuuzizza ekibuuzo nti tusaze magezi ki eri abantu baffe abatutumufu abasomoozebwa embeera oluvannyuma lw'ettutumu. Bangi mwannyannukudde n'endowooza zammwe ez'enjawulo era mwebale.
YENZE SSEKANYUMIZA AMANSA BWINO