Bukomero Fm 90.6

Bukomero Fm 90.6 Social and Economic Community Development is our first priority.

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Kampala Hon. Shamim Malende Munnakibiina kya National Unity Platform  olunaku lw'A...
08/03/2024

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Kampala Hon. Shamim Malende Munnakibiina kya National Unity Platform olunaku lw'Abakyala alukutte ne Ba Maama b'Abaana abaliko obulemu wamu n'abaana baabwe abaliko obulemu ku St James Catholic church, Butabika mu Nakawa. Ono abawadde emmere ate bbo ba Maama abasulirira okuzaala abawadde Mama kits.

08/03/2024

"Exciting News! We are thrilled to be featured on Medioq, a premier platform connecting individuals with top-notch media, news, and broadcasting companies worldwide. Explore our profile to stay informed, entertained, and connected with the latest news and updates: https://www.medioq.com/UG/Kiboga/293687204095357/Bukomero-Fm-90.6"

Nga gavumenti bwesobola okutuusa ‘condom’ mubuli kitundu ky'eGgwanga, lwaki n’ebisabika (Pads) by’abaana abawala sibweko...
07/03/2024

Nga gavumenti bwesobola okutuusa ‘condom’ mubuli kitundu ky'eGgwanga, lwaki n’ebisabika (Pads) by’abaana abawala sibwekola ng’ate ‘condom’ omuntu asobola n’okugyegulira bwaba agyetaaze? - Hon. Salaam Musumba.

Uganda Police Force mu Town Council y'e Kayunga eriko omusubuuzi w'emmwaanayi gwekutte nemwaanyi ento nga zino zisangidd...
07/03/2024

Uganda Police Force mu Town Council y'e Kayunga eriko omusubuuzi w'emmwaanayi gwekutte nemwaanyi ento nga zino zisangiddwa nga zanikiddwa mu luggya nga talina layisinsi kyegamba nti kino kimenya mateeka.

Omuyizi munna kibiina kya NUP Vincent Lubega Nsamba alangiriddwa ngomuwanguzi mu kulonda kw'omukulembeze wabayizi "Guild...
07/03/2024

Omuyizi munna kibiina kya NUP Vincent Lubega Nsamba alangiriddwa ngomuwanguzi mu kulonda kw'omukulembeze wabayizi "Guild President" mu ssettendekero wa Makerere okubaddewo leero.

Omukago omwegattira amawanga g'omubuvanjuba bwa Afirika ogwa East African Community gulina enteekateeka yokutongoza ssen...
03/03/2024

Omukago omwegattira amawanga g'omubuvanjuba bwa Afirika ogwa East African Community gulina enteekateeka yokutongoza ssente ezawamu ezinakozesebwa mu mawanga agali mu mukago guno.
Ssente zino zakuyitibwa East African Sheafra.

Enteekateeka z’okutereka Omutaka w’Ekika ky’Endiga Omubuze, Lwomwa Daniel Bbosa zigenda mu maaso ku butaka bw’Ekika e Mb...
03/03/2024

Enteekateeka z’okutereka Omutaka w’Ekika ky’Endiga Omubuze, Lwomwa Daniel Bbosa zigenda mu maaso ku butaka bw’Ekika e Mbaale mu Mawokota.

Omubiri gw'abadde Lwomwa Eng. Daniel Bbosa guzingiddwa mu mbugo ezikunukiriza mu 200.
03/03/2024

Omubiri gw'abadde Lwomwa Eng. Daniel Bbosa guzingiddwa mu mbugo ezikunukiriza mu 200.

OMUYIMBI CATHERINE KUSASIRA YADDUSIDWA EBWERU WE'GWANGA NGA TAKYASSA.Kikakasiddwaa nti, omuwabuzi wa President Museveni ...
02/03/2024

OMUYIMBI CATHERINE KUSASIRA YADDUSIDWA EBWERU WE'GWANGA NGA TAKYASSA.

Kikakasiddwaa nti, omuwabuzi wa President Museveni era Omuyimbi Catherine kusasira yaddusibwa ebweru we ggwanga oluvanyuma lwokufuna obuziibu mukussa.
Abasawo bgamba nti balina Omukalakata amasavu kumutima singa ayagala okusigala nga mulamu.
Catherine Kusasira Sserugga Ono, yaddudibwa ebweru wiiki ewedde nga embera etabuse.
Bino biwandikiddwa kumukutu gwe owa Facebook:
Yenna Alina Kyayagara Okumanya Kubimukwatako Wali, kuba
Lilly Kissy Klapwijk on 0750619931.

Ab'Ekika ky'Endiga banjulidde , Katikkiro Charles Peter Mayiga Lwomwa omuggya. Ono ye Eria Luggya Lwasi Buzaabo nga y’ab...
01/03/2024

Ab'Ekika ky'Endiga banjulidde ,
Katikkiro Charles Peter Mayiga
Lwomwa omuggya. Ono ye Eria Luggya Lwasi Buzaabo nga y’abadde Katikkiro wa Lwomwa Omubuze, Eng. Daniel Bbosa eyakubwa amasasi ku Ssande ya wiiki ewedde.

Politics:The former Vice President of Uganda, H.E Prof. Gilbert Bukenya, has been appointed as the Senior Presidential A...
29/02/2024

Politics:
The former Vice President of Uganda, H.E Prof. Gilbert Bukenya, has been appointed as the Senior Presidential Advisor on Environment and Sanitation by H.E the President of Uganda, Gen. (Rtd.) Yoweri Museveni.

Ebya Lillian Ayebazibwe bibi !Ono , mukulu wa Ssomero lya Bubaale Primary School elisangibwa  Bushenyi. Lillian , akwasi...
26/02/2024

Ebya Lillian Ayebazibwe bibi !
Ono , mukulu wa Ssomero lya Bubaale Primary School elisangibwa Bushenyi. Lillian , akwasiddwa Police ab'ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu Ggwanga ekya Uganda National Examinations Board-UNEB ku bigambibwa nti yagingiridde ebyava mu bigezo bya P.7 nebatuuka n'okuweebwa ebifo mu S.1 mu masomero agenjanwulo so nga ebigezo by'abayizi bano 114 byakwatibwa ku nsonga ezekuusa ku kukoppa ebigezo.

PHOTOS: Security operatives have sealed off the premises of Lubowa International Specialized Hospital barring access for...
26/02/2024

PHOTOS: Security operatives have sealed off the premises of Lubowa International Specialized Hospital barring access for the opposition MPs who were scheduled to carry out an oversight visit.

Minisita Mao akyadde mu maka gabazadde ba Beatrice kayanja
26/02/2024

Minisita Mao akyadde mu maka gabazadde ba Beatrice kayanja

25/02/2024

Kigambibwa nti abatamanyangamba abakubye omukulu w'Ekika ky'Endiga Omutaka Lwomwa Eng. Daniel Bbosa amasasi agamutiddewo abatuuze babagobye nebabakwata okukakana ng'omu bamutiddewo ate omulala ali mu mbeera mbi nnyo. Yo emmundu ekozeseddwa mu ttemu lino nayo efuniddwa. Ebirala birindirire mu mawulire gaffe.

Kitalo!Omutaka Lwomwa Eng. Daniel Bbosa omukulu w'ekika ky'abeddira Endiga akubuddwa amasasi agamuttiddewo e Lungujja bw...
25/02/2024

Kitalo!
Omutaka Lwomwa Eng. Daniel Bbosa omukulu w'ekika ky'abeddira Endiga akubuddwa amasasi agamuttiddewo e Lungujja bwabadde ewuwe.
Lindirira ebisingawo.

Moi Avenue back in 1960s🇰🇪
24/02/2024

Moi Avenue back in 1960s🇰🇪

Katikkiro Charles Peter Mayiga  atongozza Empaka z'Amaato 2024 olwaleero ku Nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba.
24/02/2024

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Empaka z'Amaato 2024 olwaleero ku Nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba.

Omuyimbi Rema Namakula ayimbidde abawagizibe ennyimba z'omukwano mu kivvulu kyatuumye "Melodies of Love". Katikkiro, ab'...
24/02/2024

Omuyimbi Rema Namakula ayimbidde abawagizibe ennyimba z'omukwano mu kivvulu kyatuumye "Melodies of Love".
Katikkiro, ab'omu Makaage, ne Baminisita ba Kabaka okuli Owek. Israel Kazibwe Kitooke, ne Ssaalongo Sserwanga Robert, beetabye mu kivvulu kino.
Katikkiro ,Yebaziza Dr. Hamza Ssebunnya olwokuwagira mukyalawe Namakula, era n'asaba abantu batwale eky'okulabirako ky'ababiri bano ekyokuwagiragana.

E kivvulu kibadde ku Sheraton Hotel mu Kampala.

Musana Ibrahim aka Pressure 247 eyali yegumbulidde okuvuma Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Pulezidenti Yo...
23/02/2024

Musana Ibrahim aka Pressure 247 eyali yegumbulidde okuvuma Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku Tiktok asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Ronald Kayizzi owa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa emisango okuli okuvvoola nokwogera obubaka obwobukyaayi ku Kabaka wa Buganda ne Pulezidenti Museveni. Wabula Musana ategeezezza omulamuzi nti ye byeyakola mu butambi obugambibwa okusiga obukyaayi ku bakulembeze 2 teyakimanya nti yali azza musango kuba alina ekizibu ku bwongo nti era yali yakava mu Ddwaliro e Butabika.
Ono ayongeddeko nti emizimu gya Bassekabaka gimusumbuwa nga gimulagira okuddaabiriza amasiro nti wabula awandiikidde Buganda amabulawa agawerako ngabategeeza nti talina nsimbi zakudaabiriza masiro wabula nga tebamwanukula.
📸 Christine Nabatanzi

Gavumenti ng’eyita mu ministry y’ebyentambula esabuukuludde emmeeri lugogoma egenda okusaabaliranga ku nnyanja Nnalubaal...
22/02/2024

Gavumenti ng’eyita mu ministry y’ebyentambula esabuukuludde emmeeri lugogoma egenda okusaabaliranga ku nnyanja Nnalubaale.
Yakusimbulanga okuva ku mwalo gwa Port Bell mu Uganda eyolekere Mwanza Tanzania ne Kisumu mu Kenya.
Minister omubeezi ow’ebyentambula Musa Echweru bwabadde atongoza emmeeri eno, agambye nti egenda kuyamba nnyo mu kusaabaza ebyamaguzi.
MV Mpungu kitegeerekese nti erina obusobozi bw’okutikka lukululana ezeetikka Container ezikubyeko obugule 21.

Comedian Reign of Maulana & Reign graduates from St. Lawrence University. Congratulations 🎉🎉
22/02/2024

Comedian Reign of Maulana & Reign graduates from St. Lawrence University. Congratulations 🎉🎉

Pulezident wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alondeddwa okuvuganya ku ngule eweebwa abantu abasinze okutakabanira emire...
22/02/2024

Pulezident wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alondeddwa okuvuganya ku ngule eweebwa abantu abasinze okutakabanira emirembe mu nsi yonna eyitibwa ‘Cinema for Peace Honorary Award’ ng’eno etegekebwa aba ‘Cinema for Peace Foundation’ abali e Bugirimaani.
Engule eno Kyagulanyi agivuganyako n’abantu basatu okuli Omutukuvu Paapa Francis, munnabyabufuzi omugundivu mu ggwanga lya America era nga yavuganyaako ku ntebe y’Obwapulezidenti mu ggwanga eryo Hillary Clinton, n’eyaliko Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations, Ban Ki Moon.
Ebisingawo ku mboozi eno birindirire mu pulogulaamu

Gavumenti eweze mbagirawo ba ssentebe b'ebyalo (L.C I) okujja ssente ku batuuze okubakubira stamp ku biwandiiko ebitongo...
22/02/2024

Gavumenti eweze mbagirawo ba ssentebe b'ebyalo (L.C I) okujja ssente ku batuuze okubakubira stamp ku biwandiiko ebitongole.
Minister wa gavumenti ez'ebitundu Raphael Magyezi agambye nti ba ssentebe kyebakola kimenya mateeka nti era essaawa yonna waakuyisa ekiwandiiko ekinyweza ekiragiro kino (Statutory Instrument).
Wabula ba ssentebe nabo bakombye ku erima, bagamba nti akasente ako kebasaba kekabayamba okutambuza emirimu kubanga basasulwa omusaala gwa nsimbi omutwalo gumu gwokka buli mwezi.

Kkooti enkulu mu Kampala ekkirizza Martha Nkwanzi ne Patricia Kakwanza bawala b’omugenzi omusuubuzi Henry Katanga okweyi...
21/02/2024

Kkooti enkulu mu Kampala ekkirizza Martha Nkwanzi ne Patricia Kakwanza bawala b’omugenzi omusuubuzi Henry Katanga okweyimirirwa. Nkwanzi ne Kakwanza baakwatibwa ne nnyabwe Molly Katanga oluvannyuma lw’okutta kitaabwe nga November 2, 2023, mu maka ga famire yaabwe e Mbuya mu divizoni y’e Nakawa.

Drunken Master Sam Seed toy 😁🍾 R.I.P. Simon Yuen (1912-1979) 💐
20/02/2024

Drunken Master Sam Seed toy 😁🍾
R.I.P. Simon Yuen (1912-1979) 💐

Mutabani w'omugenzi Paul Job Kafeero avuddeyo nategeeza nti GRAVITTY OMUTUJJU yaddamu oluyimba lwa kitaabwe olwa Walumbe...
20/02/2024

Mutabani w'omugenzi Paul Job Kafeero avuddeyo nategeeza nti GRAVITTY OMUTUJJU yaddamu oluyimba lwa kitaabwe olwa Walumbe Zzaaya olwamufuula kyali wabula teyabawa yadde ekikumi nti era teyakoma kwekyo wabula nawemulira ne mu luyimba lwa kitaabwe ebitagambika naye bamuleka kuba balaba nga naye anoonya kuyitawo. Bano bongerako nti Bobi Wine yabanoonya bweyali addamu oluyimba lwa Dipo naziggala nasaba olukusa era nabawa ne ssente.

Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka ategeezezza Palamenti nti essaawa yonna gavumenti ereeta enkyukakyuka ez'o...
20/02/2024

Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka ategeezezza Palamenti nti essaawa yonna gavumenti ereeta enkyukakyuka ez'omuggundu mu ssemateeka w'eggwanga era nga mu kaseera kano minisita wa Ssemateeka, Norbert Mao yakakung’aanya obuwaayiro 73 obwetaaga okukyusa nga yabuweereza dda ne mu kakiiko akavunanyizibwa ku kwekebejja amateeka ka Uganda Law Reform Commission okugekenneenya obulungi.
Ono era ategeezezza nti Mao yasisinkana dda n'abamu ku babaka nebakubaganya ebirowoozo ku buwaayiro obw’enjawulo nga kati bateekateeka kusisinkana balala.

Omubaka omukyala owa Kampala  munnamateeka Hon Shamim Malende  asisinkanye abamu ku bakulembeze ba NUP mu South Africa o...
18/02/2024

Omubaka omukyala owa Kampala munnamateeka Hon Shamim Malende asisinkanye abamu ku bakulembeze ba NUP mu South Africa okutema empenda z'okunyweza enkola z'ekibiina n'okunga abaggya.
Basisinkanye mu kibuga Cape Town. Mu nsisinkano eno mubaddemu
Jombwe ne Peter Yawe n'abalala.

BACK IN TIME: Old Taxi Park, Kampala, in 1968. Peugeot 404 Estates, Peugeot 504 Estates, and Bedford 'Tipper' Lorries we...
17/02/2024

BACK IN TIME: Old Taxi Park, Kampala, in 1968.

Peugeot 404 Estates, Peugeot 504 Estates, and Bedford 'Tipper' Lorries were the common means of transportation.

📸 Photo shared by Oyulu Patrick.

Ekiro ekikesezza olw'aleero Omuntu omu afiridewo n'omusabaaze nadusibbwa mu ddwaliro nga biwala ttaka , taxi ebadde ewen...
17/02/2024

Ekiro ekikesezza olw'aleero Omuntu omu afiridewo n'omusabaaze nadusibbwa mu ddwaliro nga biwala ttaka , taxi ebadde ewenyuka obuweewo bweyingiridde Owa Boda Boda n'emuttirawo mbulaga Ku lugundo oluva E Namugongo okuda E Seeta mu kitundu Kye bayitta Nakiyanja okupi na mafuta ga Shell.

Kitalo!Omukulu w'essomoro lya Awara College Etori mu Kibuga Arua afiiridde mu kabenje bwabadde ajja e Kampala okukima eb...
17/02/2024

Kitalo!
Omukulu w'essomoro lya Awara College Etori mu Kibuga Arua afiiridde mu kabenje bwabadde ajja e Kampala okukima ebyavudde mu bigezo by'abayizi ba S.4 era ng'abayizi 7 babadde bayitidde mu ddaala erisooka.
Ms Lillian Letaru (ayimiridde) yafiiridde mu kabenje akagudde wakati wa Kafu–Kigumba ku luguudo lwa Arua - Gulu ku ssaawa emu eyookumakya.
Kigambibwa nti bavudde mu bbaasi ya Kkampuni ya Califonia eyafiiridde ku kubo bbo nabasaabaze abalala nebateekebwa ku Fuso egambibwa okuba nti yabadde mu mbeera mbi era oluvannyuma yatomereganye ne motoka endala eyabadde esimbye ku luguudo.

Poliisi e Lwengo ekutte abavubuka musanvu e Kyoko 7 ku bigambibwa nti balumbye essabo ne banyagulula ebintu ebiwerako.Ab...
14/02/2024

Poliisi e Lwengo ekutte abavubuka musanvu e Kyoko 7 ku bigambibwa nti balumbye essabo ne banyagulula ebintu ebiwerako.
Abakwate ye; Yiga Vincent, Mulindwa Dick, Ssekamatte Ronald, Sserunjogi Isaac, Jjunju Joseph 18, Ssebatta Bruhane ne Ggabula Ronald aduumira akabinja kano.
Bano baalumbye essabo lya Jjajja Ggalaba e Kyoko mu ggombolola y’e Kisekka mu kiro ekikeesezza leero.
Babbye essimu z’abalwadde musanvu, n’ebirala.
Kigambibwa nti ekkubo lyababuze olwo poliisi nekwata kiwedde.

Rwandese singer The Ben has landed in Uganda ahead of his Valentine's Day show at Comedy Store Uganda
14/02/2024

Rwandese singer The Ben has landed in Uganda ahead of his Valentine's Day show at Comedy Store Uganda


Olwaleero mu butongole, Katikkiro Charles Peter Mayiga akwasiddwa ennyumba Buddukiro entongole eya Ppookino, Omwami w'es...
13/02/2024

Olwaleero mu butongole, Katikkiro Charles Peter Mayiga akwasiddwa ennyumba Buddukiro entongole eya Ppookino, Omwami w'essaza Buddu.
Eddaabiriziddwa bulungi okutuuka n'omutindo omutuufu ogusaanira ekitiibwa kya Buganda Kingdom.

Kitalo! Omuyimbi Adam Mulwana Afudde!
13/02/2024

Kitalo!
Omuyimbi Adam Mulwana Afudde!

Good Morning 🌄
13/02/2024

Good Morning 🌄

Address

Bukomero Town
Kiboga
+256

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Bukomero Fm 90.6 posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Business

Send a message to Bukomero Fm 90.6:

Videos

Share

Category


Other Radio Stations in Kiboga

Show All

You may also like