Ggwanga

Ggwanga News

Pulezidenti we kibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ayimirizza  omumyuuka we mu kitundu kya masekati ga uganda  (B...
28/03/2024

Pulezidenti we kibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ayimirizza omumyuuka we mu kitundu kya masekati ga uganda (Buganda) Oweek. Mathias Mpuuga Nsamba

Sipiika Annet Anita Among ayanukudde abakulira ekiibiina kya MUP. Mu ggwanga.
26/03/2024

Sipiika Annet Anita Among ayanukudde abakulira ekiibiina kya MUP. Mu ggwanga.

Eyaliko akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Mathias Mpuuga Nsamba akalambidde nga bwatagenda kuva mu kibiina...
26/03/2024

Eyaliko akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Mathias Mpuuga Nsamba akalambidde nga bwatagenda kuva mu kibiina kya NUP era nti abamuvuma bamuvumire munda. Ono era atongozza enteekateeka jaagenda okukungaanyirizaamu ebirowoozo by'abantu abatali basanyufu abali mu kibiina kya NUP.

'Komishona' Oweek. Mathias Mpuuga Nsamba ayise olukungaana lwa bannamawulire kubigenda mu maaso jaali.
25/03/2024

'Komishona' Oweek. Mathias Mpuuga Nsamba ayise olukungaana lwa bannamawulire kubigenda mu maaso jaali.

Ekibiina kya NUP kiwandiikidde sipiika wa palamenti nga kimutegeeza nga bwekijjeyo "komishona" Oweek. Mathias Mpuuga Nsa...
25/03/2024

Ekibiina kya NUP kiwandiikidde sipiika wa palamenti nga kimutegeeza nga bwekijjeyo "komishona" Oweek. Mathias Mpuuga Nsamba . tulindiridde sipiika Annet Anita Among byanabaddamu

Enkyukakyuka mu ba minisita ezikoleddwa omukulembeze w'eggwanga YKM7
21/03/2024

Enkyukakyuka mu ba minisita ezikoleddwa omukulembeze w'eggwanga YKM7

Gen. Muhoozi Kainerugaba omuduumi wa maggye omuggya nga yadidde Gen. Mbadi mubigere nga ono alondeddwa nga minisita omub...
21/03/2024

Gen. Muhoozi Kainerugaba omuduumi wa maggye omuggya nga yadidde Gen. Mbadi mubigere nga ono alondeddwa nga minisita omubeezi ow'eby'obusuubuzi

Okulonda E Ddokolo
21/03/2024

Okulonda E Ddokolo

Omulangira we Edinburgh mu Bungereza, Edward Antony Richard Louis, akyaddeko e Bulange naasisinkana Kabineeti ya Kabaka ...
20/03/2024

Omulangira we Edinburgh mu Bungereza, Edward Antony Richard Louis, akyaddeko e Bulange naasisinkana Kabineeti ya Kabaka ekulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Omulangira awerekeddwako Omubaka wa Bungereza mu Uganda Kate Airey, n'abakungu abawerako.

Olulyo Olulangira lukiikiriddwa Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Omulangira David Kintu Wasajja, ne Omulangira Cryspin Jjunju Kiweewa.

Poliisi eyongezza ensimbi eri omuntu yenna alina amawulire ku Lujja Bbosa Tabula ateeberezebwa okuba emabega g'okutta ey...
18/03/2024

Poliisi eyongezza ensimbi eri omuntu yenna alina amawulire ku Lujja Bbosa Tabula ateeberezebwa okuba emabega g'okutta eyali omukulu w'ekika ky'Endiga Eng. Daniel Bbosa okuva ku bukadde 10 okutuuka kubukadde 20.

Wabaluseewo ekirwadde ky'amaaso mu masomero
13/03/2024

Wabaluseewo ekirwadde ky'amaaso mu masomero

Pulezidenti Museveni asisinkanye omukubiriza w'olukiiko lw'eggwanga olukulu Annet Anita Among mu makaage Entebbe.
13/03/2024

Pulezidenti Museveni asisinkanye omukubiriza w'olukiiko lw'eggwanga olukulu Annet Anita Among mu makaage Entebbe.

Ababala Barnabas Tinkasiimire ne Theodore Ssekikubo bagamba nti ekiri mu palamenti tebakirabangako bukya.
13/03/2024

Ababala Barnabas Tinkasiimire ne Theodore Ssekikubo bagamba nti ekiri mu palamenti tebakirabangako bukya.

Abayizi ku ssetendekero wa MUBS balaze obutali bumativu nebaasa namaddirisa agebizimbe ebitali bimu. Kino bakikoze nga b...
08/03/2024

Abayizi ku ssetendekero wa MUBS balaze obutali bumativu nebaasa namaddirisa agebizimbe ebitali bimu. Kino bakikoze nga bawakanya ekyokugaana okusunsulamu omuntu waabwe Juma Waswa Balunywa
ono mubali mu lwokaano yabadde asingamu ettuttumu.

People Power , Our Power
08/03/2024

People Power , Our Power

04/03/2024

Abadde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola akwasizza abadde omumyuuka we Maj. Gen. Tumusiime Katsigazi obuvunaanyizibwa bwobuduumizi bwa poliisi mu ggwanga. Ono ekisanja kye kibadde kiweddeko era nga yafeesi ajiwaddeyo mu kimpowooze.

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kikutte omukulu w'essomero erya Bubaale primary school e Bush...
26/02/2024

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kikutte omukulu w'essomero erya Bubaale primary school e Bushenyi. Ono abadde agaba ebyaava mu bigezo bya P7 eby'ekikwangala ate nga ebituufu ekitongole kya UNEB kikyabikutte nga bwekibyetegereza. Ekitongole kya UNEB kirina ebigezo bya bayizi abatuula omwaka ogwa 2023 byekikyalina nga ku lino essomero ebigezo bya bayizi 114 bakyabyetegereza wabula leero babadde batandise okuwuliriza abayizi ku nsonga eno era webakizuulidde era nebamukwata.

Ababaka abali ku ludda oluwabula gavumenti mu palamenti nga bakulembeddwamu abakulira Joel Ssenyonyi balemeseddwa okulam...
26/02/2024

Ababaka abali ku ludda oluwabula gavumenti mu palamenti nga bakulembeddwamu abakulira Joel Ssenyonyi balemeseddwa okulambula eddwaliro lye Lubowa.

Minisita ow'ebyamateeka n'essiga eddamuzi Norbert Mao akyadde mu maka gabaladde abamuzaalira omukyaala Beatrice Kayanja
26/02/2024

Minisita ow'ebyamateeka n'essiga eddamuzi Norbert Mao akyadde mu maka gabaladde abamuzaalira omukyaala Beatrice Kayanja

Omukulu w'ekika ky'Endiga omutaka Bbosa akubiddwa amasasi agamutiddewo ng'adda ewuwe. Wabula abateeberezebwa okumukuba a...
26/02/2024

Omukulu w'ekika ky'Endiga omutaka Bbosa akubiddwa amasasi agamutiddewo ng'adda ewuwe. Wabula abateeberezebwa okumukuba amasasi nabo abatuuze babakubye era omu nafiirawo omulala naddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.

Minisita ow'ebyenjigiriza n'eby'emizannyo J. K Museveni asiimye omulimu ogukoleddwa omugagga Hamis Kiggundu ogwokuzimba ...
20/02/2024

Minisita ow'ebyenjigiriza n'eby'emizannyo J. K Museveni asiimye omulimu ogukoleddwa omugagga Hamis Kiggundu ogwokuzimba ekisaawe ekya Nakivubo.

Ekitongole kya poliisi kikakasizza nga Musana Ibrahiim eyeyita pressure bweyakwatiddwa . kubigambo byabadde ayogera ku M...
19/02/2024

Ekitongole kya poliisi kikakasizza nga Musana Ibrahiim eyeyita pressure bweyakwatiddwa . kubigambo byabadde ayogera ku Mutanda ne kattikiro. poliisi erabudde nga bwebatajja kuwa kyaanya bantu baakika nga kino abasiga obukyaali , obusosoze mu mawanga n'ebirala

Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo ku muvubuka Ibrahim Musana eyeyita pressure  abadde yeefudde mmo mu kuvvoola Ssa...
19/02/2024

Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo ku muvubuka Ibrahim Musana eyeyita pressure abadde yeefudde mmo mu kuvvoola Ssaabasajja.
"Nneebaza Minisita wa Kabaka ow'Amawulire era Omwogezi w'Obwakabaka olw'ebigambo bino: Omuntu yenna eyepampalika ku Nnamulondo (ng'omuvubuka ono, Ibrahim Musana) abadde avvoola Kabaka n'Obwakabaka, tuggya kweyambisa woofiisi ya Ssaabawolereza okumukwata n'okumusimba mu kkooti, asibwe."

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ndaga muntu ekya NIRA kyakuddamu okuwandiisa bannansi mu mwezi ogw'omukaaga ogw'omwaka gu...
19/02/2024

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ndaga muntu ekya NIRA kyakuddamu okuwandiisa bannansi mu mwezi ogw'omukaaga ogw'omwaka guno . Ssenkulu w'ekitongole kino Rosemary Kisembo asabye bannansi okwettanira enteekateeka eno wabula alabudde abo abaabuza kaada enkadde nga bwebajja okusasulira empya baagala tebaagala .

Kkooti ejulirwamu eyimirizza okutunda eby'obugagga by'obusiraamu omuli ne kitebe. Abalamuzi basatu bebagubadde mu mitamb...
14/12/2023

Kkooti ejulirwamu eyimirizza okutunda eby'obugagga by'obusiraamu omuli ne kitebe. Abalamuzi basatu bebagubadde mu mitambo.

Ssaabasajja Kabaka alambudde amasiro g'e Kasubi okwetegereza omulimu gw'okugaddaabiriza we gutuuse. Alambudde ennyumba M...
03/07/2023

Ssaabasajja Kabaka alambudde amasiro g'e Kasubi okwetegereza omulimu gw'okugaddaabiriza we gutuuse.

Alambudde ennyumba Muzibwazaalampanga, ebyuma ebizikiriza omuliro n'enkozesa yaabyo, ttanka z'amazzi, n'ennyumba Bujjabukula.

Katikkiro w'amasiro g'e Kasubi, y'abaddewo n'alambuza Beene ebifo bino, ng'ayambibwako Abagiriinya.

Ssaabasajja asiimye Abagiriinya olw'omulimu gwe bakoze oguweesa Obwakabaka ekitiibwa. Yebaziza ne Gavumenti ya Japan olw'okuwayo ebyuma ebizikiriza omuliro eby'omulembe.

Omukulembeze Ow'ennono owa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere waakulya butaala oluvanyuma lw'omuwaabi wa gavumenti okumuj...
13/06/2023

Omukulembeze Ow'ennono owa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere waakulya butaala oluvanyuma lw'omuwaabi wa gavumenti okumujjako emisango ejaali jamuggulwaako omuli okulya mu nsi olukwe n'emirala .

President Museveni yeyawudde oluvanyuma lwokuzuulibwaamu ekirwadde kya Covid19 obuyinza abukwasizza ssaabaminisita wa Ug...
08/06/2023

President Museveni yeyawudde oluvanyuma lwokuzuulibwaamu ekirwadde kya Covid19 obuyinza abukwasizza ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabanja okumala ennaku bbiri.

Address

Kampala
Kampala

Telephone

+256783150520

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Ggwanga posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Business

Send a message to Ggwanga:

Videos

Share