01/11/2021
ABADDE YEEYITA AZIMBA EMIZIKITI MU OFIISI YA M***I, POLIISI EMUYODDE LWA KUBBA BANTU
Musajja mukulu abadde nga yeyita omuzimbi we muziki okuva mu ofiisi ya m***i poliisi emukutte nemuggalira ku bigambibwa nti aludde nga abba bantu. Eyakwaatiddwa ye Wafula Kulaira Ibrahim naye nga abadde akyuusa kyuusa amannya okusinziira ku kitundu gyaba agenze okubba, wabula azaalibwa Kachonga mu district ye Butaleja, ono okusinga asinze kubba mu Basiraàmu era babbye nnyo nga yefuula azimba emizikiti na masomero okuva mu ofiisi ya m***i sheikh Shaban Ramadan Mubajje, ono era yasangiddwa ne warrant ya poliisi nga olumu yeeyita omuserikale wa poliisi, kyokka ssi muserikale. Abadde nga no lumu emizikiti gyasanga mu mbeera embi asooka ku gimenya olwo nagamba abatuuze nti bakamaabe tebanna muweereza ssente, bwe waba waliwo eziriwo mu ggwanika lyo muzikiti basooke bakozeseeko ezo okugula ebizimbisibwa ebitandika, nga oluzimukwaasa taddamu kulabika.
Kigambibwa nti ono mu bufere bwe abadde nga abba abasiraamu nga abalimba okubazimbira emizikiti na masomero, nga abategeeza nga bwalina ebintongole ebigabi byo buyambi okuva mu Saudi Arabia ne Oman nga oluusi yeeyita omukozi mu State House, naye gye biggweera nga omugabi wo buyambi ate awunzika ababbyeeko ne bwe baatereka mu ggwanika. Ono obubbi buno abadde abukolera mu district okuli Kibuku, Pallisa, Budaka, Namisindwa, Busia ne Manafa.
Ono okukwaatibwa kyavudde ku kugenda e Lwakhaka mu district ye Namisindwa no bukodyo bwe bumu najja ku Basiraàmu ssente Akadde 1 ne mutwaalo 80 nga abasuubizza okubayamba okubazimbira omuzikiti ne ssomero nga ensimbi zino zakuyamba ku sseminti agenda okutandika okuzimba, era yapangisizza emmotoka ku Hassan omuvuzi wa sipesulo e Lwakhaka, kyokka olwatuuse e Mbale naayagala okugitunda kyokka gwe yabadde agiguza nga amanyi nnyiniyo kwe kumukubira akakase oba agitunda, olwagambye nti nedda, ono kwe kutemya ku poliisi eyasitukiddemu ne muyoola.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon Rogers Tayitika yakakasizza okukwaatibwa kwa Wafula Kulaira, era yagambye nti poliisi erudde nga emunoonya ku misango egye njawulo era agenda kuvunaanibwa obubbi, obufere, okujja ssente ku bantu mu lukujjukujju ssaako okujingilira warranty ya poliisi, era agenda kuyamba ku poliisi okuzuula ani abadde nga amuwa ebyambalo bya poliisi. Ono kiteberezebwa nti aliko banne bwe babba era nga poliisi bagenda kumufunamu amawulire ga babbi abalala.
Ekifaananyi kiraga Wafula Kulaira nga ali ku mpingu ku poliisi e Mbale