Radio Buddu 98.8FM and 95.5FM

Radio Buddu 98.8FM and 95.5FM Buddu Broadcasting Services Ltd, incorporated as a private company in May 2001 opened up Radio Buddu as its first Radio Station.

Radio Buddu broadcasts mainly in Luganda on 98.8FM and 95.5FM .

Kkampuni ya Eco Brixs  nga yegasse wamu n'amattendekero saako ne kkampuni  ya Bio Diversity Conservation, Nagenda Intern...
04/04/2024

Kkampuni ya Eco Brixs nga yegasse wamu n'amattendekero saako ne kkampuni ya Bio Diversity Conservation, Nagenda International Academy of Art and Design ne kkampuni endala bakoze bulungi bwansi mu kibuga kye Mpigi mukawefube wokumanyisa abantu ku bintu eby'enjawulo ebisobola okukolebwa mu bintu ebisulibwa gamba nga Pulasitiiki nobuveera.

Your bet is always a safe bet with SemaBet UG !!!!Get up to 200% stake refund on bets of minimum 5 Lines and minimum odd...
04/04/2024

Your bet is always a safe bet with SemaBet UG !!!!
Get up to 200% stake refund on bets of minimum 5 Lines and minimum odds 1.25
What more could one ask for? Play now at semabet.ug

Mirembe Maria, ojjudde eneema,Omukama ali nawe, waweebwa omukisa mu Bakazi bonna; ne Yezu Omwana w'endayo,nayye wa mukis...
04/04/2024

Mirembe Maria, ojjudde eneema,
Omukama ali nawe, waweebwa omukisa mu Bakazi bonna; ne Yezu Omwana w'endayo,
nayye wa mukisa. Maria omutukirivu,
Nyina Katonda, otusabire ffe abonoonyi,
kaakano, ne mu kaseera ak'okufa kwaffe.
Amiina.

  Naye Arsenal ekikola etya?Arsenal 2 - 0 Luton Town
03/04/2024


Naye Arsenal ekikola etya?
Arsenal 2 - 0 Luton Town

03/04/2024

Kansala Alice Nannunji owa NUP neyali speaker wa Masaka city munna-NUP Tonny Ssempijja bakwatiddwa nga bakafuluma kkanso yekibuga Masaka kubigambibwa nti bakukusa ekiteeso mu Kkanso yekibuga Masaka.

Tuli nabakulu okuva mu kitongole kya kaliisoliiso wa Gavumenti Inspectorate Of Government nga boogera kungeri abantu gye...
03/04/2024

Tuli nabakulu okuva mu kitongole kya kaliisoliiso wa Gavumenti Inspectorate Of Government nga boogera kungeri abantu gyebasobola okwenyigira mu kawefube w'okulwanyisa obuli bwenguzi okusobola okunyweza obuwereza mu bantu.

03/04/2024

Abaffeee... kiki ekikunyizizza leero?

Programme ne SuperBj Uganda kulwa Dj Dannio Official

Akulira oludda oluvuganya Joel Ssenyonyi atabukidde mu Palamenti oluvanyuma lwa Minisita omubeezi omuggya ow'abaana n'ab...
03/04/2024

Akulira oludda oluvuganya Joel Ssenyonyi atabukidde mu Palamenti oluvanyuma lwa Minisita omubeezi omuggya ow'abaana n'abavubuka Balam Barugahare okumusaba olukalala lw'abavubuka ba NUP abaasibwa mu Makomera mu biseera by'okulonda, alabe nga bayimbulwa.Kino kijje Hon. Ssenyonyi mu mbeera, natuuka ne kussa ery'okulangira Hon Balam nti talina kyamanyi naye akyamukiridde nnyo nalowooza nti alina n'obuyinza obuyimbula abasibe okuva mu Makomera.
Amyuuka Sipiika Thomas Tayebwa alabudde Hon Ssenyonyi akomye okukozesa olulimi oluvvoola kubanga Balam gwayisaamu amaaso yafuuse Minisita mulamba era asanidde okumuwa ekitiibwa ng'amateeka gebagoberera bwegagamba.
Wabula Ssenyonyi yewozezaako nti tannavvoola ku Balam wabula Ababaka abawaga ekibabonyabonya, butamanya Luzungu era atuuse ne kussa ery'okujjayo Dictionary y'essimu nataputa ebigambo byakozesezza.

Libadde ssanyu jjereere ng'omubaka omukyala akiikirira distulikiti ye Dokolo Sarah Aguti munna Kibiina kya UPC saako neb...
03/04/2024

Libadde ssanyu jjereere ng'omubaka omukyala akiikirira distulikiti ye Dokolo Sarah Aguti munna Kibiina kya UPC saako neba minisita abalondebwa omukulembeze weggwanga nga balayizibwa mu Palamenti.

Abayimbi bangi okwetoloola eggwanga beetabye mu, kuziika Humphrey Mayanja eyafa wiiki ewedde. Bya Irakoze Hussan Ambasad...
03/04/2024

Abayimbi bangi okwetoloola eggwanga beetabye mu, kuziika Humphrey Mayanja eyafa wiiki ewedde.

Bya Irakoze Hussan Ambasador Owakabi

Arsenal ezannya Luton Town, gulawo account naffe nga wewandiisa ku https://www.bongobongo.ug/ osibe emipiira jetukutered...
03/04/2024

Arsenal ezannya Luton Town, gulawo account naffe nga wewandiisa ku https://www.bongobongo.ug/ osibe emipiira jetukutereddeyo. Ebisingawo tukubire ku simu zaffe +256202405683 oba ku WhatsApp number yaffe 0702887546

Man City ezannya Aston Villa ekiro kya leero gulawo akawunti ne SemaBet UG nga oyita ku mukutu gwabwe ogwa https://semab...
03/04/2024

Man City ezannya Aston Villa ekiro kya leero gulawo akawunti ne SemaBet UG nga oyita ku mukutu gwabwe ogwa https://semabet.ug/ osibe omupiira guno nga Aston Villa erwana okukuuma ekifo kyayo.
Guggwa gutya?

Enteekateeka z'okuziika omugenzi Humphrey Mayanja muganda wa bayimbi Jose Chameleons, Weasel ne Pallaso zigenda mumaaso ...
03/04/2024

Enteekateeka z'okuziika omugenzi Humphrey Mayanja muganda wa bayimbi Jose Chameleons, Weasel ne Pallaso zigenda mumaaso ku kyaalo kalangaalo.

Bya Irakoze Hussan Ambasador Owakabi

Kkooti etaputa ssemateeka nga ekulembeddwamu omulamuzi Richard Buteera esazizaamu okusaba okwali kutwaliddwayo abantu ab...
03/04/2024

Kkooti etaputa ssemateeka nga ekulembeddwamu omulamuzi Richard Buteera esazizaamu okusaba okwali kutwaliddwayo abantu abawagira obufumbo obwekikula ekimu nga baagala etteeka erikugira ekikolwa ekyo lisazibwemu.

Omubaka akiikirira Nnyendo Mukungwe ate nga ye Kamisona wa Palamenti Mathias Mpuuga Nsamba ngali wamu ne Hon. Medard Lub...
03/04/2024

Omubaka akiikirira Nnyendo Mukungwe ate nga ye Kamisona wa Palamenti Mathias Mpuuga Nsamba ngali wamu ne Hon. Medard Lubega Sseggona batuseeko e Bulange Mengo okuwagira enteekateeka y'emisinde gyamazaalibwa ga Kabaka.

 Pulezidenti omulonde ow'eggwanga lya Senegal Bassirou Diomaye Faye alayiziddwa mu ntebe ng'omukulembeze ow'okutaano mu ...
03/04/2024


Pulezidenti omulonde ow'eggwanga lya Senegal Bassirou Diomaye Faye alayiziddwa mu ntebe ng'omukulembeze ow'okutaano mu ggwanga eryo. Ku myaka 44 ono yemukulembeze omulonde asingayo obuto munsi yonna. Ono obutafananako nga mumbeera eyabulijjo, okuvuganaya kwe yakukoze nga avudde mu kkomera mu nnaku 9 zokka naye tekyamulobedde kuwangula kalulu kano.

Munna Kibiina kya Forum for Democratic Change Dr. Kizza Besigye ayaniriziddwa n'essanyu abantu b'omukibuga kye Mbarara. ...
03/04/2024

Munna Kibiina kya Forum for Democratic Change Dr. Kizza Besigye ayaniriziddwa n'essanyu abantu b'omukibuga kye Mbarara. Ekibiina kya FDC ekiwaayi kye Katonga kyavaayo nekitegeeza nga bwekigenda okutalaaga ebitundu byeggwanga eby'enjawulo okwebuuza ku bantu oba ddala kyetaaga okwegata n'ekiwaayi kye Najjanankumbi.

Hon Sarah Mateke mu butongole awaddeyo ofiisi eri Minisita omujja omubeezi owekikula kyabantu, abakozi nokwekulaakulanya...
03/04/2024

Hon Sarah Mateke mu butongole awaddeyo ofiisi eri Minisita omujja omubeezi owekikula kyabantu, abakozi nokwekulaakulanya ku nsonga zabavubuka nabaana Balaam Attenyi Byarugahare mu butongole

๐Ÿ“ท Nile Post

Poliisi ekutte Iguma Mubarak ow'emyaka 33 olw'okweyita kyatali n'okufera abantu 200 nga bwabasolooza ensimbi. Ono yakaka...
03/04/2024

Poliisi ekutte Iguma Mubarak ow'emyaka 33 olw'okweyita kyatali n'okufera abantu 200 nga bwabasolooza ensimbi. Ono yakakasa abantu okuli aba boda boda, abavuzi ba takisi, saluuni, abamabaala saako nabasuubuzi nga bwali mu MK Movement era nabasuubiza okubatuusa ewa Gen. Muhoozi Kainerugaba. Poliisi eri ku muyigo gw'abantu babadde akolagana nabo.

Embeera y'obudde ebadde etya eyo?
03/04/2024

Embeera y'obudde ebadde etya eyo?

02/04/2024

Programme , amawulire agabaddewo mu lunaku olulamba.
Prossy Kabanda PK , Salim Kibombo

02/04/2024

Obuli bwenguzi mu byobufuzi, biki ebibuleetawo?
ne Hajj Umar Bukenya

02/04/2024

Obuli bwenguzi mu byobufuzi

Emipiira mingi egigenda okuzannyibwa leero n'olwekyo gulawo account naffe nga wewandiisa ku https://www.bongobongo.ug/ o...
02/04/2024

Emipiira mingi egigenda okuzannyibwa leero n'olwekyo gulawo account naffe nga wewandiisa ku https://www.bongobongo.ug/ osibe emipiira jetukutereddeyo. Ebisingawo tukubire ku simu zaffe +256202405683 oba ku WhatsApp number yaffe 0702887546
BongoBongo UG

Ensonga z'ebyobufuzi mu ggwanga nyinji, tosubwa leero ssaawa 1 eyakawungeezi nga Hajj Umar Bukenya ne Nsubuga Maje Maje ...
02/04/2024

Ensonga z'ebyobufuzi mu ggwanga nyinji, tosubwa leero ssaawa 1 eyakawungeezi nga Hajj Umar Bukenya ne Nsubuga Maje Maje bazikubamu tooki mu

Omuyimbi Davido ategezeza nga bwagenda okukuba omukutu gwamawulire ogwa K24 ogusangibwa mu ggwanga lya Kenya mumbuga za ...
02/04/2024

Omuyimbi Davido ategezeza nga bwagenda okukuba omukutu gwamawulire ogwa K24 ogusangibwa mu ggwanga lya Kenya mumbuga za mateeka olw'eggulire lyegwafulumizza ggwo lyegugamba nti kabadde kabadi kolunaku lwa "Fools Day". Omukutu guno gwavudeyo negutegeeza abantu nti omuyimbi ono yakwatiddwa ku kisaawe ky'ennyonyi ekya JKIA - Jomo Kenyatta International Airport oluvannyuma lwokusangibwa n'enjaga mu nnyonyi mweyabadde atambulira. Davido agamba takwatibwangako mu mawanga gonna gazze atambuliramu nga kwotadde naago mwawangaalira. Newankubadde olunaku lwabadde lwa kulimba omuyimbi agamba ekikolwa kyebamutaddeko kizito era ekikolwa kyebakoze tekiraga buvunaanyizibwa yadde.

02/04/2024

Ttiimu ya Arsenal , Manchester City bazaako ki, kiki ekiri mu

Programme Monday - Friday 4pm - 5pm.

Singa mwawukana ne munno newayita akabanga katono, mukwano gwo nakuwereza kaadi ekuyita ku mbaga ye nga ku kaadi eyo kul...
02/04/2024

Singa mwawukana ne munno newayita akabanga katono, mukwano gwo nakuwereza kaadi ekuyita ku mbaga ye nga ku kaadi eyo kuliko erinnya lyomuntu eyakava ewuwo, abaffe okola otya, ogenda yo!!!

Kojja we Masaka SuperBj Uganda yakikutemu olunaku olwaleero nga Dj Dannio Official bwafuna obujjanjabi,

Eggye lya UPDF livuddeyo neritegeza ng'emotoka yayo eya "Funeral Service" Bwekoze akabenje ku luguudo lw'Entebbe bwereme...
02/04/2024

Eggye lya UPDF livuddeyo neritegeza ng'emotoka yayo eya "Funeral Service" Bwekoze akabenje ku luguudo lw'Entebbe bweremeredde omugoba waayo netomera emotoka 4 ng'obuzibu buvudde ku motoka yaabwe okugaana okusiba naye tewali muntu yenna akoseddwa. Eggye lyetonze olw'embeera eno eguddewo.

Amyuuka Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Thomas Tayebwa awagidde ekiteeso kya bbaanka enkulu eya Uganda ekyokugaana omuntu ...
02/04/2024

Amyuuka Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Thomas Tayebwa awagidde ekiteeso kya bbaanka enkulu eya Uganda ekyokugaana omuntu atali munnansi weggwanga lya Uganda okufuuka ssenkulu wa Bbaanka ya Stanbic. Agamba nti banna Uganda ababiri ababadde bajikulira bakola bulunji nnyo era talaba nsonga lwaki baleeta omuntu atali munnansi. Kekaseera Uganda yegatte ku mawanga nga Kenya ne South Africa agatakiriza kugaba bifo nga bino okusobola okukuuma abakozi mu Uganda. Kino kidiridde okwemulugunya kw'omubaka Paul Omara okuvaayo nasaba Palamenti okuwagira ekiteeso kya Bbaanka enkulu nga agamba bbaanka ya Stanbic esooke kunonyereza oba waliwo munna Uganda asobola.

Address

Elgin Street
Masaka
00256

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Radio Buddu 98.8FM and 95.5FM posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Business

Send a message to Radio Buddu 98.8FM and 95.5FM:

Videos

Share

Category

Radio Buddu 98.8FM|95.5FM Radio yโ€™Omuntu wa Bulijjo

Radio Buddu broadcasts mainly in Luganda on 98.8FM and 95.5FM thereby effectively covering the districts of Masaka, Rakai, Sembabule, Kalangala, Mpigi, Mityana, Bukomansimbi, Lwengo, Kalungu, Butambala, Wakiso, Kampala, Mukono, Buikwe, Mubende, Luwero, Kayunga, Jinja, Kamuli, Mbarara, Lyantonde, Kiboga, Nakasongola and parts of Northern Tanzania. We have a weekly reach of 35% in the central regional .