Ababaka okuva kuludda oluvuganya bategezzezza nga bwebakyagenda mumaaso n'olutalo lw'emwaanyi era nga kati lwafuuse lutalo lw'abyanfuna. Bano bagamba bagenda kutandikira webaakoma singa sipiika ayitayo palamenti okuva muluwummula esaawa yonna.
#smart24tvnow
#agafamubyobusuubuzi
Sipiika wa palamenti ya EALA Joseph Ntakirutimana asazizzamu olutula lwapalamenti olubadde olusembayo mumwaka oluvanyuma babaka begwanga lya Kenya okubulawo mulutuula lunno.
wabaddewo nebiyitingana nti ababaka ku EALA bagala kuggya bwesige mu sipiika wabbwe waddenga abamu babiwakanyizza
#smart24tvnow
#agafamubyobusuubuzi
Embeera nga bwebadde mu palamenti. ababaka babadde bakomyewo kunsonga y'okugatta ebitongole bya gavumenti omuli n'eky'emwaanyi ekya UCDA. omubaka we Mityana Francis Zaake akubiddwa mubaka munne. ono addusiddwa mu ddwaliro nga embeera mbi.
#smart24tvnow
#agafamubyobusuubuzi
Enkuba ekedde kufudemba enkya yaleero mubitundu by'eggwanga ebyenjawulo. wano mu kampala amazzi ganjadde munguudo okutuuka okulemesa ebyentambula. Ggwe ekusanze wa? Era ekuyisizza etya?
#smart24tvnow
#agafamubyobusuubuzi
Akola nga ssenkulu wa KCCA owakaseera Frank Rusa ayanjudde enteekateeka
zalina mubanga elye’mwezi esatu .
Ono asinzidde ku city hall mukampala nategeza nga bwatadde esira kukudabiliza
Enguudo ezilina ebiinnya , okulwanyisa Enguuzi mukitongole ekyo awamu
nokulabanga ekibugga kikulakulana nga akolaganira wamu nebaane samuel
kirimunda Yalina ebisingako awo.
#smart24tvnow
#agafamubyobusubuzi
Gavumenti etandise kaweefube wo kukwasisa amateeka ku kunsasula yomusolo mu ggwanga kisobozese okutasa ebyenfuna bye ggwanga.
Binno bibadde mu kwanjula alipoota efulumiziddwa olwaleero nga yekusa ku bumenyi bwa mateeka obuli mu kukusa ensimbi wamu nokwewala emisolo.
#smart24tvnow
#agafamubyobusubuzi
Omukulembeze weggwanga yoweri kaguta museveni asabye bana Uganda okujumbira okusoma olulimi oluswahili kibasobozese okwanguyirwa okwogerezeganya nabantu abalala wano muggwanga Uganda namawanga agatuliranye, president museveni era anyonyode ebirunji ebiri muluswahiri omuli okuba nga terusosola mumawanga. Okwongera bino omukulembeze weggwanga abade ku mukolo abayizi 350 bwebabade batikirwa mululimi oluswahili nga bano bebasokede dala muntekateka yekibiina ki NRM era omukulembeze atade ensimbi obukade 100 mu sacco yabwe.
#smart24tvnow
#agafamubyobusubuzi
Ababaka abawakanya ekitongole kya Uganda Coffee Development Authority okugattibwa mu minisitule y'ebyobulimi bakyakalambidde okuyisa etteeka linno era bano bataddewo kiremya kukuyisa eteeka linno.Wadde nga oludda lwa NRM luwangudde mukulonda n'obululu 159,eteeka likyalemye okuyita.
Rosette Nansamba Samula Hanifah Ronald Kiweesi
#smart24tvnow
#agafamubyobusubuzi
Namutikwo wenkuba eyafudembye yalese abantu mu district ye mityana bafumbya Miaji nga Kati ekyokulya bawamanta kiwammante.
Ensuku zamatooke, emwanyi, kasooli,muwogo nebintu ebirala wetwogerera biri kuttaka nga abatuuze bagamba ekibanakuwaza kwekuba nga ensimbi bazewola ssonga abalala zebafuna kunteekateeka ya PDM nga kati tebasubira kuzizayo
#smart24tvnow
#agafamubyobusubuzi
Bannabitone , abayimbi, bannakatemba bagamba betaga gaumenti ekole enongosereza mu tteeka ku bwananyini kubanga bafiirwa obuwumbi obusoba mu 78 buli mwaka.
Banno era bagala ebibanda bya firimu bigyibwewo olwo basobole okufuna obwenkanya.
Banno okwogera binno babadde basisinkanye ne kitongole kya Ucc ku kutema empeeda ku butya banno bwe basobola okugoberera amateeka agabafuga.
Naomi Samantha
#smart24tvnow
#agafamubyobusubuzi
Ababaka ba palamenti ku ludda oluvuganya bakubye emeeza, baganyi okugatta ekitongole ky'emwaanyi ekya UCDA ku ministry y'ebyobulimi.
Samula Hanifah
Ronald Kiweesi
#smart24tvnow
#agafamubyobusubuzi
Gavumenti ya uganda evuddeyo okwanukula obubaka bwa Dr Kizza
Besigye nga buyita kumikutu gimugatta bantu nga agamba nti
gavumenti yewola ensimbi ezikozesebwa omukulembeze weggwanga
wamu nokusasula abakozi.
Henry musasizi minister omubeezi owebyensimbi nga asinziira ku
media centre mu kampala agambye nti ebyogerwa dr besigye bikyamu
nnyo kubanga gavumenti erina embalirira eyobuse 72 kwetambulira
songa nebyenfuna byeggwanga byeyongera okukula buli lukya.
#agafamubyobusubuzi #smart24tv #smart24tvnews #smart24tvnow #smart24tvuganda #smart24tv_uganda