BBS Terefayina - Eyaffe

BBS Terefayina - Eyaffe Buganda Broadcasting Service is the official Broadcasting Television of Buganda Kingdom in Uganda.

Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Rt Hon. Joel Ssenyonyi alabudde Gavumenti okubeera obulindaala ng' amataba agali ...
06/05/2024

Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Rt Hon. Joel Ssenyonyi alabudde Gavumenti okubeera obulindaala ng' amataba agali e Kenya akadde konna gasobola okutuuka wano kuba buli lukya amazzi g'ennyanja Victoria geeyongera okulinnya.

19/09/2023

| Hasifu Ssekiwunga

Olwaleero Ssaabalabirizi w’ekkanisa y’Abadiventi mu Uganda, Pr. Dr. Moses Maka Ndimukika wamu ne bannaddiini abalala mu ...
19/09/2023

Olwaleero Ssaabalabirizi w’ekkanisa y’Abadiventi mu Uganda, Pr. Dr. Moses Maka Ndimukika wamu ne bannaddiini abalala mu nzikkiriza eno bakyaddeko ku kitebe ekikulu ekya BBS Terefayina e Mmengo ku Masengere okulaba emirimu bwegitambula n’okwogeramu n’abakulu abatwala Terefayina ku nsonga ez’enjawulo.
Bano baaniriziddwa Ssenkulu wa BBS, Omuk. Patrick Ssembajjo, Akulira entambuza y’emirimu, Steven Dunstan Busuulwa n’abaweereza abalala oluvannyuma nebalambuzibwa ebitongole eby’enjawulo.

  | Olowooza ki ku kya ssentebe wa FDC Ambassador Wasswa Birigwa n’abakulembeze abalala okugoba Pulezidenti w'ekibiina P...
19/09/2023

| Olowooza ki ku kya ssentebe wa FDC Ambassador Wasswa Birigwa n’abakulembeze abalala okugoba Pulezidenti w'ekibiina Patrick Oboi Amuriat ne Ssaabawandiisi Nandala Mafabi? Endowooza yo egenda kusomwa butereevu mu mawulire

Ababaka ba Palamenti baagala wabeewo okunoonyereza ku ssente obuwumbi 13 obwaweebwa minisitule y'ebyobulambuzi okutegeka...
19/09/2023

Ababaka ba Palamenti baagala wabeewo okunoonyereza ku ssente obuwumbi 13 obwaweebwa minisitule y'ebyobulambuzi okutegeka empaka z'ennyimba eza MTV Africa Music Awards (MAMA Awards) eza 2020 kyokka nezitategekebwa oluvannyuma lw’okukizuula nti gavumenti yali erina ebigendererwa byayo ebirala mu nteekateeka eno.
Empaka za MAMA Awards zivuganyizibwako abayimbi mu Africa yonna era zino zaali zakubaawo nga 13 June era ng’omubalirizi w'ebitabo bya gavumenti akakasizza nti ensimbi z'okutegeka minisitule yazifuna.

Olwaleero tosubwa bannabalenzi ba B2C MusicUg  ne Florence Nampijja mu pulogulaamu
19/09/2023

Olwaleero tosubwa bannabalenzi ba B2C MusicUg ne Florence Nampijja mu pulogulaamu

19/09/2023

| Jaxta ne Tashi Hubby

Engeri Amasaza gye gakozeemu emirimu omwaka 2022/2023.
19/09/2023

Engeri Amasaza gye gakozeemu emirimu omwaka 2022/2023.

  | Tuubulire ekinnyonyi kino mukiyita mutya mu lulimi lwammwe, ye osinga ku  kimanyako ki?
19/09/2023

| Tuubulire ekinnyonyi kino mukiyita mutya mu lulimi lwammwe, ye osinga ku kimanyako ki?

19/09/2023

| Aba Nsambya Babies Home

Olukiiko lwa FDC otudde Katonga Road wamu n’olukiiko olufuzi olw’ekibiina  (NEC) lukoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’e...
19/09/2023

Olukiiko lwa FDC otudde Katonga Road wamu n’olukiiko olufuzi olw’ekibiina (NEC) lukoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ekibiina, Omuloodi w’ekibuga Kampala Erias Lukwago alondeddwa okukola nga pulezidenti w’ekibiina ow’ekiseera nebayimiriza Patrick Oboi Amuriat , Ssaabawandiisi w'ekibiina ne bamusikiza Harold Kaija. Ebisingawo Sulaiman Ssebugwawo abireeta mu mawulire ne

Olowoozaaki ku ky’abamu ku babaka ba Palamenti okuvumirira ennyambala y’abayimbi  Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu bwebal...
19/09/2023

Olowoozaaki ku ky’abamu ku babaka ba Palamenti okuvumirira ennyambala y’abayimbi Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu bwebali beeraga amaanyi mu kivvulu ekyali e Kololo nga bagamba nti yasaasaanya obuseegu nedda ne mukati?

Twegatteko okwagaliza mukozi munnaffe Hasifah Karungi akuweereza Pulogulaamu   ne   amazaalibwa amalungi. Yogaayoga munn...
19/09/2023

Twegatteko okwagaliza mukozi munnaffe Hasifah Karungi akuweereza Pulogulaamu ne amazaalibwa amalungi. Yogaayoga munnaffe.

19/09/2023

| Ttabbu Ki?

19/09/2023

| Mukitundu Kyo

Olowoozaaki ku bigambibwa nti Ssentebe wa FDC, Amb. Wasswa Birigwa ate y’agenze naggyayo empapula okuvuganya kubwa Ssent...
19/09/2023

Olowoozaaki ku bigambibwa nti Ssentebe wa FDC, Amb. Wasswa Birigwa ate y’agenze naggyayo empapula okuvuganya kubwa Ssentebe mu kulonda okutegekeddwa ekiwayi kya Nandala Mafabi ne Amuriat?

19/09/2023

| By'olina okumanya ku nteekateeka y'okugula emigabo mu Airtel

Katikkiro Charles Peter Mayiga akungubagidde omuyimbi era munnakatemba Evelyn Nakabira (Evelyn Lagu) eyafudde olunaku lw...
19/09/2023

Katikkiro Charles Peter Mayiga akungubagidde omuyimbi era munnakatemba Evelyn Nakabira (Evelyn Lagu) eyafudde olunaku lw’eggulo. Katikkiro, omugenzi amwebazizza olw’obutatuulira kitone kye ate n'okweyisa obulungi mu bulamu bwe. Kamalabyonna asaasidde nnyo ab’oluganda, mikwano gy’omugenzi ne bannabitone bonna.

Address

Bulange Way Road
Kampala

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when BBS Terefayina - Eyaffe posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Videos

Share

Category

Nearby media companies