Ssaabaminisita Robinnah Nabbanja ngagoba emmeeri empya Mpungu bweyabadde agitongoza olunaku lweggulo.
#ffemmwemmweffe
Omulamuzi Catherine Bamugemereire mu nsala ye agamba nti yandiyimirizza emisango gyonna egigenda mu maaso mu Kkooti y'Amaggye okuleka egyo egyokubonereza abasirikale abakyali mu maggye oluvannyuma lwokugizuula nti ekontana ne Ssemateeka era tesobola kuwa nsala yamazima nabwenkanya nga obuwayiiro 28(1) ne 44 obwa Ssemateeka bwebukirambika.
I would forthwith suspend all operations of the courts martial, save for the hearing of disciplinary matters pertaining to serving officers. – Lady Justice Catherine Bamugemereire
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
Ssaabaminisita, Robinah Nabbanja, atuuse e Luzira ku Port Bell okutongoza M.V Mpungu, ku nnyanja Nalubaale nga egenda kusaabalira wakati wa Uganda ne Tanzania. Eno yazimbiddwa mu Uganda, era nga kigitwalira essaawa 18 okusaabala wakati wa Port Bell ne Tanzania.
#ffemmwemmweffe
Bannakibiina kya National Resistance Movement - NRM mu Kawempe North bavuddeyo nebalaga obutali bumativu bwabwe ku ngeri Faridah Nambi gyeyaweereddwamu Kkaadi okukwatira ekibiina bendera kukujuza ekifo ky'Omubaka wa Kawempe.
Abamu bawuliddwa nga bagamba nti ono si namutuuze mu Kawempe nga bweyabuuziddwa gyabeera ngabategeeza nga offiisi ye bweyagitadde ewa Mbogo.
Hajjat Hanifah Karadi agamba nti babagambye bugambi nti kkaadi bagiwadde Nambi ye kwekusalawo okwesimbawo ku bwannamunigina.
Bya Khalid Kintu
#ffemmwemmweffe
Omu ku bakyala b'omugenzi Muhammad Ssegiriinya aka Mr Updates , Twahira Ssegiriinya avuddeyo olunaku olwaleero nalangirira nga bwagenda okwesimbawo ku kifo kyomubaka wa Kawempe North okuddira omwami we mu bigere eyava mu bulamu bwensi. Ono yesimbyeewo ku bwannamunigina.
Bya Khalid Kintu
#ffemmwemmweffe
Abakungu okuva mu offiisi ya kaliisoliiso wa Gavumenti olunaku olwaleero bagenze mu offiisi ya Uganda Land Commission mu Kampala okukola okunoonyereza ku kwemulugunya okuwerako okwatekebwayo abantu abenjawulo nga bagamba nti baguza Gavumenti ettaka wabula nga tebasasulwanga. Waliwo abantu mu ULC abavaayo nebatemya ku IGG nga bwewaliwo ssente ezasulwa ku ttaka eritaliiyo.
Abanoonyerezebwako kuliko; Registry, Senior Accountant, ne Secretary wa Uganda Land Commission.
Officials from the Inspectorate of Government (IGG) conduct investigations at the Uganda Land Commission in Kampala on January 30, 2025. The offices under scrutiny include the Lands Registry, the Senior Accountant, and the Secretary of the Uganda Land Commission. The probe was initiated following numerous complaints from individuals who sold their land to the government through the Commission. Insiders and whistleblowers have reported instances where payments were made for non-existent 'ghost land'.
#ffemmwemmweffe
Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP Abas Byakagaba mu lukiiko lwa Bannamawulire olwaleero ayanjudde enkola empya eya Sub-County Policing egendereddwamu okukendeeza ku bumenyi bw'amateeka.
IGP Abas Byakagaba addressing the journalists about Sub county policing model a new initiative intended to reduce on crime across the country.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe
Waliwo abagambibwa okuba ababbi nga babadde batambulira mu motoka ekika kya Harrier abatebuse Poliisi nebadduka ku Capital Shoppers e Ntinda.
Kigambibwa nti bano banyaga mu kifo kyekimu obukadde 23 nebintu ebirala gyebuvuddeko bwebamenya emotoka ya nannyini Forex Bureau ya Best Rates wabula nabalaba nga ku luno bwebakomyeewo natemya ku Poliisi. Badduse nebasuula emotoka ebadde kubiddwa emipiira.
Bya James Kamali
#ffemmwemmweffe
Waliwo abavubuka abagumbye ku Poliisi ya Old Kampala nga kigambibwa nti baferebwa owa Century Tours and Travel Agency esangibwa ku Rubaga Road ku Old Kampala, oluvannyuma lwokukitegeerako nti nannyini Kkampuni eno Jorrum Kaweesi yakwatiddwa oluvannyuma lwokwekwekera akabanga.
Bano bagamba nti yabaggyako wakati wobukadde 3 ku 5 ngabasuubiza okubatwala e Canada ne Dubai okubafunira emirimu okuva mu 2023.
Bya Kamali James
#ffemmwemmwe
Naye banange kiki ekibatwaza emotoka za Funeral mu bbaala!?
#ffemmwemmweffe
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku byembuuka z'ennyonyi ekya @Civil Aviation Authority kivuddeyo ku nnyonyi ya Kkampuni ya Turkish Airways eyalabiddwako mu bwengula bwamambuka ga Kampala ku Sunday ku makya okumala essaawa 3. CAA egamba nti ennyonyi eno yabadde eyolekera Instambul ngetisse abasaabaze 259 wabula nefunamu obuzibu bwebatyo nebasalawo edde ku kisaawe Entebe wabula yabadde erina okumala akabanga mu bbanga okukendeeza ku mufuta esigaze ago gerina okubeera nago ngekka ku kisaawe.
A Turkish Airlines flight number TK612, which departed Entebbe International Airport for Istanbul on Sunday, January 26, 2025, at approximately 07.14 hours with 259 people on board, was unable to proceed to its final destination due to safety precautions.
The A333 aircraft successfully returned and landed at Entebbe International Airport at 10.50 hours after safely circling Ugandan airspace (areas of Northern Kampala) for over 3 hours to reduce fuel to the required safe landing weight.
The precautionary measures taken are standard safety procedures in the aviation industry. All the passengers and crew were safely disembarked.
#ffemmwemmweffe
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nga bwebakutte abasajja ababiri abalabikira mu katambi nga banyakula akasawo okuva ku mukazi wa Mobile Money eyali yakatuuka ku mulimu e Kansanga nga 23 January, 2025.
Abantu abaliwo basaba Patrol ya kkampuni yobwannanyini enkuumi SWAT ebagobe wabula nebababulako. Poliisi egamba nti yabanoonyezza era nebafuna.
#ffemmwemmweffe