BBS Terefayina

BBS Terefayina BBS

11/06/2024

| Ekipya okuva ku ssomero lya Elite High School Entebbe

Tulina ekitongole ekizimbi n’ekisolooza ennyumba zabapangisa nga osobola okututuukirira netukuyamba mu mbeera eno - Rich...
11/06/2024

Tulina ekitongole ekizimbi n’ekisolooza ennyumba zabapangisa nga osobola okututuukirira netukuyamba mu mbeera eno - Richard Mawanda okuva mu Tabula Property Service.

Richard Mawanda okuva mu Tabula Property Service agamba balina ‘Estate’ eya Gobero - Kibujjo esangibwa ku Hoima Road nga...
11/06/2024

Richard Mawanda okuva mu Tabula Property Service agamba balina ‘Estate’ eya Gobero - Kibujjo esangibwa ku Hoima Road nga yakusulamu eno nga nnungi eri abo abakooye kerere w’ekibuga ng’omuntu osobola okuzimbako amaka amanene ddala nasaako n’ennimiro nga poloti etandikira ku bukadde 8 – 10.

Ffe aba Tabula Property Service tulina ‘Estate’ eyitibwa Bakka -Bulondo esangibwa e Nkowe ku Hoima Road ng’erimu amasany...
11/06/2024

Ffe aba Tabula Property Service tulina ‘Estate’ eyitibwa Bakka -Bulondo esangibwa e Nkowe ku Hoima Road ng’erimu amasanyalaze, amazzi n’ebirala nga eky’enjawulo ku ‘Estate’ eno siyakusulamu busuzi kyokka wabula omuntu asobola n’okuzimbako amadduka ga bizinensi ate nga n’ekyapa ku mmeeza.

Aba Tabula Property Service tutambulira nnyo mu ttaka lya Private Mailo land nga lino bwoligula ofuna ekyapa ekikakasa o...
11/06/2024

Aba Tabula Property Service tutambulira nnyo mu ttaka lya Private Mailo land nga lino bwoligula ofuna ekyapa ekikakasa obwanannyini bwo ku ttaka eryo.

11/06/2024

Aba Tabula Property Service bazze n’ekipya eri gwe ayagala okufuna ettaka okutali nkaayana.

Live Video Link: https://fb.watch/sDIus2eWiO/

11/06/2024

| Ekipya okuva mu Tabula Property Service batunda ettaka

Ab’ekibiina ekigatta abakyala n’abaana Bannamagoye ki Women and Children with Albinism bateeseteese omukolo gw’okukuza o...
11/06/2024

Ab’ekibiina ekigatta abakyala n’abaana Bannamagoye ki Women and Children with Albinism bateeseteese omukolo gw’okukuza olunaku lwabwe nga guno gugenda kubeera ku kitebe kya disitulikiti e Wakiso ku Lwokuna luno nga 13 era bakoowodde abantu okubaawo bajagulize wamu.

Mu ngeri yeemu, bano bajja kuba bajaguza emyaka 10 egy’ekibiina kino nga wajja kubaawo okukumba n’ekigendererwa okuzibula abantu amaaso ku nsonga za bannamagoye ez’enjawulo, omwoleso nga muno bajja kwolesa bifaananyi ebyoleka olugendo lwabwe olw’emyaka 10 n’ebirala bingi.

Abantu abamu balina nzikiriza ezitali ntuufu eri Bannamagoye era abamu balowooza tetufa. Nze waliwo n’omuntu eyanzigyako...
11/06/2024

Abantu abamu balina nzikiriza ezitali ntuufu eri Bannamagoye era abamu balowooza tetufa. Nze waliwo n’omuntu eyanzigyako enviiri zange nga alowooza alina kyasobola okufuna naye ssaamufaako kubanga namanya nti ali ku bibye - Dainah Bakuyita, muwanika wa Women and Children with Albinism.

Nawejje Doreen Mayanja akulira ekibiina ekigatta abaana n’abakyala Bannamagoye ki Women and Children with Albinism agamb...
11/06/2024

Nawejje Doreen Mayanja akulira ekibiina ekigatta abaana n’abakyala Bannamagoye ki Women and Children with Albinism agamba abantu abamu tebaagala kubawa mirimu nga balowooza tebasobola kukola. Wabula ono asabye bannannyini mirimu obutabaleka bbali kuba bakozi nnyo n’okusinga bwebalowooza.

Nawejje Doreen Mayanja: Tukosebwa nnyo omusana era tusaba bannaffe okugwewala naddala nga bettanira ebintu ng’enkofiira....
11/06/2024

Nawejje Doreen Mayanja: Tukosebwa nnyo omusana era tusaba bannaffe okugwewala naddala nga bettanira ebintu ng’enkofiira.

Ssenkulu w’ekibiina ekigatta abaana n’abakyala Bannamagoye ki Women and Children with Albinism, Nawejje Doreen Mayanja a...
11/06/2024

Ssenkulu w’ekibiina ekigatta abaana n’abakyala Bannamagoye ki Women and Children with Albinism, Nawejje Doreen Mayanja agamba Bannamagoye basomoozebwa nnyo embeera y’okusosolebwa ate nga kino oluusi kiviira ddala ku bazadde babwe era asabye abazaala Bannamagoye okukomya okubaboola. Nawejje agamba omuzadde y’alina okusooka okwagala omwana n’abalala nebalyoka bamwagala era abakubirizza okulaga abaana babwe omukwano.

Olowooza kiki ekibula mu ttiimu ya Uganda Cranes oluvannyuma lw’okukulembera Algeria 1-0 mu kitundu ekyasoose ate oluvan...
11/06/2024

Olowooza kiki ekibula mu ttiimu ya Uganda Cranes oluvannyuma lw’okukulembera Algeria 1-0 mu kitundu ekyasoose ate oluvannyuma nebagiwangula 2 - 1?

11/06/2024

| Okukuza olunaku lwa Bannamagoye mu ggwanga

11/06/2024

| Twecce

11/06/2024

Katikkiro Charles Peter Mayiga ku bakozesa obubi Omutimbagano.

Olugero: Zziga lya mmese lijjira ku kamasuAmakulu: Emirundi egisinga abantu bejjusa bamaze kugwa mu nsobi oba kubakwata....
11/06/2024

Olugero: Zziga lya mmese lijjira ku kamasu
Amakulu: Emirundi egisinga abantu bejjusa bamaze kugwa mu nsobi oba kubakwata. Kisaanye okwegendereza okwewala okugwa mu nsobi.

"Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'al...
11/06/2024

"Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange. " - Okubikkulirwa 3:20

11/06/2024

| Akaama: Haffy Powers ne Saymore Kawalaata

Obwakabaka bwa Buganda bukwataganye ne ssetendekero wa Kyambogo okuzzaawo omuti ogw’Ebyafaayo e Kyambogo Ssekabaka Walug...
10/06/2024

Obwakabaka bwa Buganda bukwataganye ne ssetendekero wa Kyambogo okuzzaawo omuti ogw’Ebyafaayo e Kyambogo Ssekabaka Walugembe Muteesa 1 gweyatuulamu nga awandiikira Queen wa Bungereza ebbaluwa eyali esaba abasomesa okujja okuyigiriza abantu be ebintu ebyenjawulo.
Akakiiko k’abantu mwenda kalondeddwa okutambuza enteekateka zino nga bakulemberwa Prof. Maria Goretti Nassali Musoke n’abalala.

Akulira Eby’enjigiriza ku Ssettendekero wa Muteesa Royal University Dr.Fred Musisi akakasizza nti Ettendekero lino litan...
10/06/2024

Akulira Eby’enjigiriza ku Ssettendekero wa Muteesa Royal University Dr.Fred Musisi akakasizza nti Ettendekero lino litandise okufuna ebibala bya 'Charter' gyeryakafuna nga abayizi abasomera ku nsimbi za gavumenti ez’okwewola bagenda kutandika okubakkiriza.

Dr. Fred Musisi bino abyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire bw’abadde ayanja enteekateeka z’ebikukujjuko by’okukwasibwa 'Charter' mu butongole nga omukolo guno gwakubeerawo ku Lwokusatu lwa Ssabiiti eno e Kirumba Masaka.

10/06/2024

Bannayuganda Baweze Nkolokooto Obutewandiisa Kuzza Buggya Ndagamuntu Zabwa Singa Gavumenti Teggyawo Nsimbi Emitwalo 5 Abantu Zebalina Okusasula.

10/06/2024

Omukama wa Bunyoro Alabiseeko eri Abantu be, Yali Yasemba Kulabikako mu Mwaka gwa 2019.

10/06/2024

Omukama wa Bunyoro Alabiseeke er Abantu be, Yali Yasemba Kulabikako mu Mwaka gwa 2019.

10/06/2024

Abakulembeze Batabuse ku Bumenyi bw'Amateeka mu Kampala, Balumiriza Poliisi Okukolagana ne Bakifeesi.

Akakiiko ka Palamenti akalondoola ebitongole bya gavumenti aka COSASE olwaleero kasisinkanye abakungu b’ekitongole ekiwo...
10/06/2024

Akakiiko ka Palamenti akalondoola ebitongole bya gavumenti aka COSASE olwaleero kasisinkanye abakungu b’ekitongole ekiwooza ky’omusolo okwongera okutangaaza ku byafulumizibwa mu alipoota ya Ssaababalirizi wa gavumenti eraga vvulugu mu nzirukanya y’emirimu mu kitongole kino.

Abababaka basoose kukunya akulira URA ku nkola ya EFRIS gyebagamba nti n’okutuusa kati ekyalimu ebirumira bingi nga y’ensonga lwaki abasuubuzi bakyagisimbidde ekkuuli.

10/06/2024

Ageesigika | Stellah Nandawula Ssendagire

10/06/2024

| Sulaiman Ssebugwawo

Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu ssi musanyufu olwa gavumenti  okuggya essomo ly’ebyobu...
10/06/2024

Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu ssi musanyufu olwa gavumenti okuggya essomo ly’ebyobufuzi ku lukangaga lw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ky’agamba nti ky’ekiviiriddeko eggwanga okufuna abakulembeze ab’ekiboggwe.
Bino Kyagulanyi abyogeredde Kamwokya bw’abadde atongoza ebbanguliro ly’abakulembeze erizimbiddwa ekibiina ki NUP okuteekateeka abakulembeze.

Address

Kampala
00256

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when BBS Terefayina posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Business

Send a message to BBS Terefayina:

Videos

Share


Other Broadcasting & media production in Kampala

Show All