22/03/2024
OKUSALAWO N'OKUWABULA OKWENKOMEREDDE KUNSONGA YA SSENTE N'ABAVUMA ABAKUNGU B'OBWAKABAKA ATE N'ABERIMBIKA MUKUZIMBIBWA OBWAKABAKA.
-----------------------------------
( TUULA OKKALIRE OSOME )
ABEDI BWANIKA.
Okusooka mukulu Abedi Bwanika oyogera nnyo era tukusaba obeeko wokoma.
Mukulu ssiffe abakujja mukibiinaakyo nojja ng'otagalira mu nup.
Mukulu enkwe zewaluka okusuula Kyagulanyi mu 2019 nga weyita omwogezi wa People power mwewategekeranga mitingi mukyemwatuuma eddiiro lya Bwanika makerere, Eddiiro lya Mukaaku lubaga, Eddiiro lya Mutema mukono, Eddiiro lya Mabikke makindye, Eddiiro lya Kakande n'abalala twazibuuka era bakulu muwummuze engalabi.
Mwakola ekisinde ekyamwe ne Mao n'ekigendererwa kyokusanyawo P.P era mwalemwa.
Abamu kubanno twabalaba Ku kitebe Kya Jeema nga begasse Ku kisinde ekyakulemberwa Besigye era byagana kati werippye Ku Buganda ne MASAKA ate?
Mukulu komya okwerippa kubutakkaanya obubaawo mu nup nolwaniramu entalozo.
Tukujjukiza nti ssinga teyali Kyagulanyi gwe n'ekibinaakyo mwali temuyinza kuyisaamu yadde Kansala wa 5.
ABERIMBISE MU BUGANDA OKUBAZIIMBA NGA BAKULEMBEZE.
Kino tekyandibadde Kibi naye mpozzi bakulu bukyanga muyingira Palamenti ani kumwenna eyali atadde Federo Ku fulo ya Palamenti?
Ani kumwe eyali akutte Ku ssemasonga ettaano Buganda kweyimiridde?
Bameka kumwe abatoola kuzemuyoola mu Palamenti nemussa muggwanika lya Buganda buli mwezi?
Lwaki Buganda mugyeyambisa muntalo zemufunidde kumalya gyemwafumbirwa?
Tusaba mukikomye kubanga kyawulayawula mubantu ba Beene n'okwongera okutondawo entalo wakati wa mengo n'abawagizi ba Kyagulanyi .
ABAVUMA ABAKUNGU BA BEENE;
Bano bakola gwabwa nnakyewa era bangi bavubuka abayiiya Ebisomooza bamanyike nga tebatandise kumulembe gwa Kyagulanyi naye batandikawoda era mu 1993 bayita Kabaka omwana wa Daud Ocenge ate nebawagirwa Abalangira n'abambejja nga kyatwaliramu neyaliko Ssabalangira.
Mu 2005 bavumannyo Katikkiro Mulwanyamuli nti alidde mu Buganda olukwe era munyalwanda we MASAKA! nebekalakaasa mpaka kweyambulira Ku wankaaki w'olukiiko lwa Buganda ekintu ekyayuza ennyo Gavumenti ya Beene ng'olukiiko luyiise kumpi lwonna.
Katikkiro Walusimbi abevuma era batuuka nokwagala okumukasukira amagi amavundu mu Lukiiko!
Mayiga olwakwata Ddamula Aba Zambogo Makerere nebafuuka abamuvuganya lwakuba yafuuka n'gumya mutwe naye atobye nyo nabo kuva mu 2011.
Abantu bano baaliko mu uyd, nebaberako mu FDC era kumatikkira ga Beene aga 2011 bwemba sserabidde mwaka batuyisa bubi nnyo nga M7 yeyise eMengo!
Mu 2015 ebyettaka lya Bobi bwebyabagwa mu matu nebabyeyungako nga bagattirizaako ebyomuzikiti ogwajjibwa mu Lubiri lwe Mengo haaa ....
Bobi yesozze ebyobufuzi mu 2017 namera mu 2018 eBugiri ewa Basalirwa ate mubumalirivu obwekitako kubanga yawakanya bakaddebe abatuula eKasangati nebasalawo bawagire Namatende awo nange wennamwegattirako ngempagi yokutaasa abanyigirizibwa kuludda oluvuganya ng'atawagira Besigye bamumetta akasa nti muwagizi wa M7.
Abavubuka okuva olwo bakyawagira Bobi kyokka tabalinaako buyinza kubanga Lumbuyege ne group ye ssibakulembeze mu nup kyokka olwokuba Bobi talina buyinza ate bamuyamba nyo mubyobufuzi nga kati bebasirikalebe newankubadde kubya Buganda awunzika bamuwabyeko.
Kati kansinziire wano nsabe abavubuka bano abavumi nti mukomye okutema ettabi kwetutudde.
Mukomye okulwanyisa ENTEKATEEKA zobwakabaka.
Mukomye okubulaba ng'ekibiina kyebyobufuzi kyemuvuganya.
Nga n'ekisembayo mukkirize nti tebulina buyinza ebibanyiga bisooka kunyigiriza bwakabaka.
ENSIIMBI;
Mpuga webale kwata nsonga munkwata yakisajja kikulu nowulira okusaba kwange nti tujje ensonga zino mu mawulire kubanga ziyambyenyo abalabe baffe.
Mazima ssisaanye kuzizza wano nga noonya obukakafu nti Mpuuga nebanne bazifuna oba tebannazifuna naye nze netaaga Tuleme kuzizira kubanga zetuzira ziyamba M7 nebanne naye tuzijjeyo tuzeyambise okkuzimbira bakyala babasibe N'ABAANA kwossa bamulekwa babalwanyibaffe amayumba tubajje mu mizigo oba tuziwe abatalina mwasirizi.
ENSALAWO YA NUP
Eno yabaddemu sipidi era yabulamu okussaawo akakiiko nga kino kyekyawadde abalabe baffe essanyu n'okweriisa enkuuli kyokka ye mukamawaffe yalina ensonga nnyingiko ezavangamu obutakwatagana bulungi ne Mpuuga nga Mpuga ekintu akitambuliza mu mulembegwe ate nga Bobi ayagala kitambulire mu sitayiroze kumpi kumala myaka 2 mirambirira kale Mpuuga yatereeza buyise naye nakyo kyawedde.
OKUSALAWO OKWENKOMEREDDE;
Tetugenda kukkiriza batekawo ntalo mu Nup kumuntu yenna atasobola kwambalagana na Nakyemalira ate zikose omusajja eyewaayo nawaayo byonna nga n'obulamu mwobutwalidde❌
Mwe abakuuma N'okulwanirira Obufo bwamwe mwebale naye mumanye nti ssinga M7 abeyambisa natemawo Bobi bangi temujja kubusigaza.
Ssinga tukkiriza nemunafuya Kyagulanyi tuba tukkiriza nti fenna tuwedde.
Abayivu nabatendeke mubyobukulembeze namwe bakafulu mubyobufuzi mwali luddawa nga Bobi tannajja okwambala engatto zokuvuganya m7?
Mazima byonna byemuli tebitugasa bwemuba nga temuli bamalirivu era mulisigala mukolera bamalirivu ebyasa byonna.
NUP ERINA EMPAGI?
Mu Ug temukyali kibiina kyonna kirina mpagi mpaka nga M7 afudde netutereeza eggwanga.
Abawagizi bolaba mu nup bebaava ku Besigye ngalemereddwa era ne Kyagulanyi bwatafuba kukulembera lutabaalo lujjawo kyonziira naye alibalengera baggwerayo kubanga tulina ennyonta emu yakujjawo M7 so SSI kuziimba bibiina, ebibiina tulibiziimba nga tujjeewo M7.
NGA MMALIRIZA MBASABA MUJJE BUGANDA MUBYAWULAYAWULA ABANTU BA BEENE.
MBASABA MUWAGIRE KYAGULANYI KUBANGA BWATEMEBWA FENNA TUBA TUTEMEDDWA.
Tambuza ekiwandiiko kino👆🏿
Nze Mulangira Mawanda Dunia K.
Nkwabudde Awangale Ssemunywa🙏🏿