11/01/2025
Nnasooka okusisinkana Sseggirinya Muhammad a.k.a Eddoboozi ly'e Kyebando mu 2009 okuyita mu mukwano gwange Hajj Munyagwa Mubarak. Byali biseera nga ndi ku muggalo gw'omulimu olwa Leediyo CBS okuggibwa ku mpewo, kale Hajj Munyagwa Mubarak y'omu ku bantu abatono abambeererawo ennyo mu biro ebyo. Sseggirinya yali muvubuka omuto ku nze kyokka omumalirivu mu buli kimu, yadde nga yali mufu-mujja mu Kampala. Awo ye ne Munyagwa baafuna omusujja gw'okuvuganya mu kalulu ka 2011, omu ku bubaka bwa Paaliyamenti ate omulala ku bwammeeya bwa Kawempe. Mu kalulu ka 2016 twayongera okuliraanagana mu nkolagana, akageri ffensatule gye twasalawo okwesimbawo, ate nga tuli mu nkambi ya Dkt. Kizza Besigye. Munyagwa ne Sseggirinya bampeerereza nnyo okwesogga FDC naye mwoyo wa DP eyali mu nze n'agaana. Mu kalulu ka 2021 twali mu mpuliziganya yadde nga saakaliimu nnyo butereevu. Sseggirinya nga avudde mu kkomera gye yamala kyenkana emyaka 2, yannoonyaako ku lukomo n'anneebaza obutatya kussa ku bibanja byange bubaka obwasabanga be kikwatako babate. Yantuma n'okumwebaliza aba Kaliisoliiso era n'ansuubiza "okunsalako" nga awonye tulye ku kyennyanja ekinene. Bambi tekyasoboka! 😭😭😭 Nga avudde mu ddwaaliro omulundi ogwasooka, y'ambuuza ku lukomo (mu ngeri ya lwali) oba nnali omu ku balowooza nti si mulwadde bya ddala. Nange nnamuddamu mu ngeri ya lwali nti; "nze atali magician nnatandika ddi okukubaganya ebirowoozo ku ndwala y'abantu?!" Kyokka nno mu byonna, saamanya nti bye bigambo bye ndisemba okwogera naye! Mungu akusaasire ebyakusobako mulwanyi munnaffe! Otusooseeyo busoosi, naye ffenna ly'ekkubo! .