![.AMAWULIRE ag'essanyu galaga nti Pr Ssaalongo Samuel Kafeero AYONGEDDE okubeera OBULUNGI era atandise okunywa akatonoto...](https://img3.medioq.com/782/717/1369128527827176.jpg)
11/02/2025
.
AMAWULIRE ag'essanyu galaga nti Pr Ssaalongo Samuel Kafeero AYONGEDDE okubeera OBULUNGI era atandise okunywa akatonotono. Omusumba yalongoosebbwa eea n'adda engulu newakubadde nga akyalabirirwa mu kisenge ekya 'ICU' mu ddwaliro lya Case Hospital Kampala. Omusumba Kafeero yagwa ku kabenje ddekabusa ku Saturday February 08th bweyali avuga emmotoka okunona famireye bagende okuziika, emmotoka ekika Kya 'Double Cabin' mweyali yayambalagana n'ekimotoka ki 'Sino Truck'.
Olw'embeera gy'alimu, Pr Kafeero takkirizibwa kufuna bagenyi wabula Maama Nnaalongo Samalie Kafeero ye waali mu ddwaliro. Essaawa z'abagenyi ziri 8am, 01pm & 5pm. Omusumba Ono akulembera ettwale ery'e Ntenjeru mu East Buganda Field (EBF).