Uganda Ku Camera

  • Home
  • Uganda Ku Camera

Uganda Ku Camera Bobi Wine President Elect
Human Rights Activist
United Forces of Change
National Unity Platform
The
(2)

The Commissioner of Parliament Owek. Rt. Hon Mathias Mpuuga Nsamba has today joined mourners at Buliika village in Nama ...
12/01/2024

The Commissioner of Parliament Owek. Rt. Hon Mathias Mpuuga Nsamba has today joined mourners at Buliika village in Nama Sub-County, Mukono District for the funeral of celebrated radio & TV personality, Hajji Abdul Nsereko - the late father to Hon. Muhammad Nsereko, the Kampala Central MP.

Mpuuga noted that childhood memories of the Late's voice on Radio Uganda in the 1970s & 80s are still fresh.
He further stressed that he's only consoled that through the years of his illustrious journalism career, he shared his talents with a number journalists in different media houses.

Mpuuga who also doubles as the Nyendo-Mukungwe lawmaker emphasized that Alhajji Nsereko will be missed for his selfless service to our country, the Kabaka and his religion, Islam.

Deep commiserations to the bereaved family. May Allah reward him with Jannat-ul-Firdaus

Abazadde baffe abalungi, tubanjulira essomero lyaffe Fahad Spings Junior School nga linno lisangibwa Ndejje Zanta mu Mak...
11/01/2024

Abazadde baffe abalungi, tubanjulira essomero lyaffe Fahad Spings Junior School nga linno lisangibwa Ndejje Zanta mu Makindye Ssaabagabo.

Tulina essanyu linji okubategeeza nti abayizi baffe bayise bulungi ebibuuzo bya Islamic Primary Leaving Examinations (IPLE) era kubayizi 16 abatuula ebigezo bino, abayizi 13 bafunye obubonero 4 ate abayizi 3 nebafuna obubonero 5. Era tuli bamativu nti n'ebibuuzo ebya PLE twayitidde waggulu nyoo.

N'olwekyo tubategeeza nti okuwandiisa abayizi kukyagendera ddala mu maaso wanno ku ssomero era tubasaba okuleeta abaana bwamwe tubasomese bafuuke ab'omugaso mu ggwanga.

Osobola okutukubira ku ssimu zaffe zinno wamanga 0757285886 oba 0704561000

Ababaka ba Palamenti ku ludda oluvuganya Gavumenti nga bakulembeddwamu LOP Mathias Mpuuga Nsamba bazzeeyo mu Palamenti o...
29/11/2023

Ababaka ba Palamenti ku ludda oluvuganya Gavumenti nga bakulembeddwamu LOP Mathias Mpuuga Nsamba bazzeeyo mu Palamenti olwaleero okuwulira Alipoota ku bantu abazze babuzibwawo egenda okusomebwa.

Naludde okulaba abasajja nga banno. Thank u Hon. Hon. Sserukenya David
29/11/2023

Naludde okulaba abasajja nga banno. Thank u Hon. Hon. Sserukenya David

29/11/2023

Twagala kulaba nga abasibe abamaze emyaka mumakomera awatali musango nga bayimbuddwa so sikutusomera alipoota zamwe enkadde!!

Omumyuuka owookusatu owa Ssaabaminisita, Rt. Hon. Rukia Nakadama avuddeyo nakakasa Palamenti nti olunaku olw'enkya Gavum...
28/11/2023

Omumyuuka owookusatu owa Ssaabaminisita, Rt. Hon. Rukia Nakadama avuddeyo nakakasa Palamenti nti olunaku olw'enkya Gavumenti egenda kwanjula alipoota ekwata ku bantu abazze babuzibwawo abaludde nga babangibwa ab'oludda oluvuganya Gavumenti ekyabaviirako n’okuzira entuula za Palamenti okutuusa nga Gavumenti ebabuulidde ekituufu ku nsonga eno. Kino kiddiridde Sipiika Nnaalongo Anitah Among okuteeka Gavumenti ku nninga eyanjule alipoota eno olunaku lw'enkya.

Hon. Ronald Kanyike Evans "We expect the Speaker to be impartial and unbiased, to understand our concerns, and to empath...
26/11/2023

Hon. Ronald Kanyike Evans
"We expect the Speaker to be impartial and unbiased, to understand our concerns, and to empathize with our distress. Our request is for the Ministries of Defense, Internal Affairs, and Security to provide a report, and for those we have sought an apology from to commit to refraining from the torture of Ugandans"

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ayanukudde Sipiika wa Palamenti ku by'okub...
23/11/2023

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ayanukudde Sipiika wa Palamenti ku by'okubagaana okuddamu okukola omulimu gwa Palamenti gwonna n'agamba anti obuyinza bwe yandibadde abukozesa okubanja abantu abaawambwa okusinga okubumalira ku babaka. Ono agumizza babaka banne bwebaazira entuula za Palamenti nti tebaba na kutya kwonna ku nsonga eno kubanga baalondebwa bantu.

Owek. Mathias Mpuuga Nsamba asekeredde abalowooza nti ababaka basobola okupondooka nebakomawo mu Palamenti nga byebaasab...
23/11/2023

Owek. Mathias Mpuuga Nsamba asekeredde abalowooza nti ababaka basobola okupondooka nebakomawo mu Palamenti nga byebaasaba tebikoleddwa olw'okutya okuggyibwako ensako nagamba nti akirowooza ali ku bibye kubanga ababaka tebasobola kuwewuka kutuuka awo kubanga omuwi w'omusolo abasasula bulungi ekimala. Owek. Mpuuga agamba nti wadde ng'ensako ya babaka ya makulu gyebali ate nga eri mu mateeka ababaka basobola okutambuza bulamu mu ngeri nnyigi nebweba tebaweereddwa nsako era nti asuubira okubatega akalippo ako abiveeko buvi.

Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ategeezezza nti ababaka ba Opozisoni abakyagenda mu maaso n'okukiika mu palamenti balina ens...
23/11/2023

Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ategeezezza nti ababaka ba Opozisoni abakyagenda mu maaso n'okukiika mu palamenti balina ensonga zabwe ez'obuntu naye ssi za ludda kuvuganya era ye ne banne bakyali bumu wadde nga waliwo abaagala okubaggya ku mulamwa. Ono yewuunyizza n'omu ku babaka abo eyavaayo nagamba nti eby'okuzira entuula za Palamenti biyamba kibiina kya NUP nagamba nti oyo byayogerako tabitegeera kuba kino kya bannayuganda abaawambibwa ne famire zabwe.

Hon. Ronald Kanyike Evans: If our issues aren't addressed, we will have no option but to stay out of parliament.
15/11/2023

Hon. Ronald Kanyike Evans: If our issues aren't addressed, we will have no option but to stay out of parliament.

Hon.Ronald Kanyike Evans: We, as NUP, aren't thinking about the 2026 elections because when we came into office during t...
15/11/2023

Hon.Ronald Kanyike Evans: We, as NUP, aren't thinking about the 2026 elections because when we came into office during the previous elections, we were given a 5-year mandate by the people. However, what happened during those elections saddens us, making it difficult to even think of the upcoming ones.

Bobi Wine ne Barbie Kyagulanyi balabise batya mu byambalo? Tubawe marks. Ffe Bobi tumuwadde 85% ate Barbie ne tumusimba ...
06/11/2023

Bobi Wine ne Barbie Kyagulanyi balabise batya mu byambalo? Tubawe marks. Ffe Bobi tumuwadde 85% ate Barbie ne tumusimba 92%, ate ggwe obawa mmeka??

Thank u our own Secretary General David Lewis Rubongoya for everything you've done for our Party the National Unity Plat...
03/11/2023

Thank u our own Secretary General David Lewis Rubongoya for everything you've done for our Party the National Unity Platform and our country at large.

We're so super proud of you Sir.

Walayi K.I Mukulembeze sinalabayo muntu yenna ayinza okukola kinno ky'okola. Okuva olunaku lwa leero, nkuwanikidde. Than...
03/11/2023

Walayi K.I Mukulembeze sinalabayo muntu yenna ayinza okukola kinno ky'okola. Okuva olunaku lwa leero, nkuwanikidde. Thank u bro for always taking the best pics of our President H.E Bobi Wine

"Your Excellency the First Lady, I suggest we give Big Eye a second chance, olaba otya Maama?"
03/11/2023

"Your Excellency the First Lady, I suggest we give Big Eye a second chance, olaba otya Maama?"

Ekibiina ki National Unity Platform kikakasizza nga bwekitagenda kusazaamu nteekateeka za kuggulawo kitebe ky’ekibiina k...
01/11/2023

Ekibiina ki National Unity Platform kikakasizza nga bwekitagenda kusazaamu nteekateeka za kuggulawo kitebe ky’ekibiina kyabwe e Makerere nga bwebateeseteese wadde ng’abakulu mu gavumenti bagezaako okulinnya eggere mu nteekateeka eno.

Kino kiddiridde omubaka wa gavumenti e Kawempe okuwandiika ebbaluwa ng’alagira aba NUP okusazaamu omukolo gwebategese olunaku olwenkya nti kubanga tebalina bukuumi bwabwe.

Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya ategeezezza nga olunaku olwenkya bwebagenda okuggulawo ekitebe kyabwe ewatali kuzinira ku ntoli za muntu yenna.

Ssentebe w’akabondo akatwala ba Mmeeya ne ba kkansala mu kibiina ki National Unity Platform Dr. Emmanuel Serunjoji Ow’ed...
01/11/2023

Ssentebe w’akabondo akatwala ba Mmeeya ne ba kkansala mu kibiina ki National Unity Platform Dr. Emmanuel Serunjoji Ow’eddembe aweze okukangavvula ba mmeeya ne ba kkansala abali ku kaadi y’ekibiina kino abasusse okukiryamu olukwe naddala nga bakola okusalawo ku nsonga ez’enjawulo.

Kino kiddiridde Kkansala omu mu disitulikiti ye Wakiso okuva mu mbeera n’awewenyula ba kkansala banne kibooko ng’abalanga okulya mu kibiina kyabwe olukwe nebalonda aba NRM wadde nga NUP yesinga Bakkansala abangi.

01/11/2023

Ku lunaku lw'Abajulizi 3rd June 2019, munnaffe John Bosco Kibalama yawambibwa. Okuva olwo, amayitirege mpaawo agamanyi.

Wadde Ssaabaminisita Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister yategeeza nga bwamanyi gyaali, ekitongole ky'eddembe ly'obuntu ki Uganda Human Rights Commission - UHRC mungeri y'okwewugguusa kyategeeza nti ebya Kibalama ne banne abalala 17 tugunjaawo bigunje!!

Engeri ebitongole ebirina obuvunanyizibwa kukunonyereza n'okuzuula ekituufu ekikwata ku bannansi gyebyalemereddwa, twatalaaze eggwanga okuzuula ekituufu ekikwata ku bantu bano.

Tutandise n'ebifa ku Kibalama.



Pulezident wa America, President Joe Biden alagidde Uganda ewandukululwe bunnambiro munsi ezisuubulagana ne America wans...
01/11/2023

Pulezident wa America, President Joe Biden alagidde Uganda ewandukululwe bunnambiro munsi ezisuubulagana ne America wansi w’omukago gwa ‘AGOA’ nga agamba nti ekimala kimala Uganda kefuumuulwe kuba esusse okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Biden asinze kwesiba ku kya Yoweri Kaguta Museveni okuteeka omukono ku tteeka erwanyisa omukwano ogw’ebikukujju ng’agamba nti kino Uganda yasukka weyandikomye mu kumenya amateeka okutambulirwa amawanga agali mu mukago guno.

Ku lukalala okuli amawanga agagenda okugobwa mu mukago guno kuliko, Gabon, Niger ne Central African Republic lwa kudibaga nfuga ya Demokulaasiya.

Omukulembeze wekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu a.k.a Bobi Wine asisinkanye Ssaabaminisita...
31/10/2023

Omukulembeze wekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu a.k.a Bobi Wine asisinkanye Ssaabaminisita w’Obwakabaka bwa Busoga, Ow'ekitiibwa Dr. Joseph Muvawala, namukwasa omutemwa gw'ensimbi, NUP zewaddeyo mu nteekateeka z’embaga y’obwakabaka eya Kyabazinga wa Busoga Wilberforce Gabula Nadiope IV ne Inhebantu Jovia egenda okuberewo nga 18 November omwaka guno.

We're the National Unity Platform
18/10/2023

We're the National Unity Platform

Omubaka wa Mawokota North Hon. Hilary Kiyaga a.k.a Dr Hilderman ayongedde okwewuunya babaka banne naddala abakyala aba N...
18/10/2023

Omubaka wa Mawokota North Hon. Hilary Kiyaga a.k.a Dr Hilderman ayongedde okwewuunya babaka banne naddala abakyala aba NRM abalemedde ennyo ku nsonga za Hon. MP Zaake Francis Butebi owa Mityana municipality ne Hon. Kinyamatama nga bannakazadde b’eggwanga banyigirizibwa mu ngeri ez’enjawulo nga teri anyega.

Kiyaga ayongeddeko nti ne mu malwaliro ga gavumenti agasinga temuli Ambulance nga n’abazirina balina za pick up ate nga ganyegenya yadde ng’abalina okubikolako batambulira mu luseregende ate nga kapyata.

Tusaba Allah ow'ekisa akugumye Swabulah Owomukisa era n'omwoyo gwa Taata agulamuze kisa.Inna Lillahi wa inna ilayhi raji...
15/10/2023

Tusaba Allah ow'ekisa akugumye Swabulah Owomukisa era n'omwoyo gwa Taata agulamuze kisa.

Inna Lillahi wa inna ilayhi raji'un!!

Yoweri Kaguta Museveni bring back our people dead or alive.
12/10/2023

Yoweri Kaguta Museveni bring back our people dead or alive.




Bishop William Tomusange who had come to join us in prayer for the souls of our comrades whose lives the regime ended ha...
09/10/2023

Bishop William Tomusange who had come to join us in prayer for the souls of our comrades whose lives the regime ended has also been arrested. He joins comrade Pastor Muwanguzi Andrew, and other leaders who were taken in earlier.



Bw'oba okitegedde nyiga binyizi ka like
02/10/2023

Bw'oba okitegedde nyiga binyizi ka like



H.E Bobi Wine "We shall conclude our diaspora engagements with a stop over in South Africa where we shall engage with th...
27/09/2023

H.E Bobi Wine
"We shall conclude our diaspora engagements with a stop over in South Africa where we shall engage with the Ugandan community on 3rd October in Johannesburg, meet with fellow pro-democracy leaders from across the continent on the 4th, and then return to Uganda on the 5th of October!



Obusibe bumala ne buggwa. At the end, we shall wear the victor's crown.
27/09/2023

Obusibe bumala ne buggwa. At the end, we shall wear the victor's crown.


PROGRAM:  ZZIIMBA EGGWANGA LYO Don't miss Hon. Allan Mayanja Sebunya (Mp Nakaseke Central) tomorrow on Wednesday, 27th S...
26/09/2023

PROGRAM: ZZIIMBA EGGWANGA LYO

Don't miss Hon. Allan Mayanja Sebunya (Mp Nakaseke Central) tomorrow on Wednesday, 27th September, 2023 at exactly 11am streaming live on our Facebook Platform here at Uganda Ku Camera

Tell a friend to tell a friend!!



Address


Telephone

+256750504710

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Uganda Ku Camera posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Business

Send a message to Uganda Ku Camera:

Videos

Shortcuts

  • Address
  • Telephone
  • Alerts
  • Contact The Business
  • Videos
  • Want your business to be the top-listed Media Company?

Share