Ennamula y'Obusiraamu

Ennamula y'Obusiraamu Okutegeera Eddiini ey'omunda, n'emisomo emisaale mu kusitula amadaala.

ENKOLA EY'OKUVUGANYAEddiini ezze ekula mu ngeri eno, era kisoboka eri oyo awangadde emyaka 20 okufuna empeera ezenkana o...
20/07/2023

ENKOLA EY'OKUVUGANYA

Eddiini ezze ekula mu ngeri eno, era kisoboka eri oyo awangadde emyaka 20 okufuna empeera ezenkana oba ezisinga ku z'oyo eyawangaala emyaka 1,000 ng'ensi etandika. Katonda Omwenkanya yassaawo amakubo agatali gamu okusobola okuggusa kino:

✪ Okukubisibwa: Nga kiri ku bantu ab'omulembe guno gwokka, ebiva mu kirungi ekiba kikoleddwa byeyongera okusinziira ku ssuubi ery'okusasulwa Allah (Niyya), awatali kutunula ku bunene bwakyo. Wabula ekibi tekikubisibwamu.

✪ Okugezaako okwonoona tekibalwa: Muno mwe muli endowooza enkyamu n'enteekateeka zonna ez'okukola ekibi. Mu Hadiithil Qudsi, Katonda yalagira bamalayika abavunaanyizibwako nti;

إِذَا أَرَادَ عَبْدِي أَنْ يَعْمَلَ سَيِّئَةً، فَلَا تَكْتُبُوهَا عَلَيْهِ حَتَّى يَعْمَلَهَا
“Omuddu wange bw'agezangako okukola ekisobyo, temukiwandiikanga okutuusa nga akikoze...” (Yeegattibwako Abamanyi)

✪ Okusonyiyibwa ennyo: Ne bwe kuba kunenya mutima oluvannyuma lw'ebyo ebiba tebigenze bulungi, okusabira Nnabbi n'ebintu ebiyinza okulabwa nga ebitono — bimu ku bisonyiyisa. Kino kiyitirivu okusinga bwe kyali edda olw'obumpi bw'ebiseera eby'obuwangaazi bwaffe.

ENGERI EBIYUNGO GYE BIRIWAAMU OBUJULIZINga n'Enkomerero tennatuuka, waliwo obubonero obwateekebwaawo Omutonzi okusobola ...
29/09/2022

ENGERI EBIYUNGO GYE BIRIWAAMU OBUJULIZI

Nga n'Enkomerero tennatuuka, waliwo obubonero obwateekebwaawo Omutonzi okusobola okwolesa kyennyini ekiribaawo mw'ebyo ebisomesebwa. Mu Kitabo kye Ekitukuvu, Allah atutegeeza nti:

الْيَوْمَ نَخْتِمُ عَلَى أَفْوَاهِهِمْ وَتُكَلِّمُنَٓا أْدِيْهِمْ وَتَشْهَدُ أَرْجُلُهُمْ بِمَا كَانُوْا يَكْسِبُوْنَ ⁠۝
"[Tuligamba kw'olwo nti] olwaleero tujja kuzibikira emimwa gyabwe, gyogere Naffe emikono gyabwe era gajulire amagulu gaabwe kw'ebyo bye baakolanga." (Yaa-Siin, 36:65)

Ng'oggyeeko okwasimula, okukolola, okulogootana — n'ebintu ebirala ebijja ku buwaze; eriyo ebintu bingi ebikolebwa awatali kubyagala. Bwe luba nga olubuto lusobola okuwuuma n'amagumba okuvaamu eddoboozi, tekirilobera na biyungo okwogera.

Obutakoma ku Bamalayika abawandiika emirimu, abajulizi abalisookerwako b'ebo abatambula n'omuntu buli w'alaga ebiyungo, b'atalibaako na buyinza kw'olwo. Kale Omukkiriza aba asaana okuba omwegendereza mu buli ky'akola.
Ibraheem Ahmad Ntakambi II

OKUTONDA SSI KWA NNAKU 6 ZOKKA – SSAAYANSI WA QUR'AN OW'OMUNDAMu Ssuula al-Hajj, 22:47, Allah agamba:وَاِنَّ يَوَمًا عِن...
12/09/2022

OKUTONDA SSI KWA NNAKU 6 ZOKKA – SSAAYANSI WA QUR'AN OW'OMUNDA

Mu Ssuula al-Hajj, 22:47, Allah agamba:
وَاِنَّ يَوَمًا عِنْدَ رَبِّكَ كَأَلْفِ سَنَةٍ مِمَّا تَعُدُّوْنَ
"...era mazima olunaku lumu mu maaso g'Omulezi wo, lulimu emyaka lukumi mu mbala yammwe."

Kisomesebwa nti Katonda yateekawo eggulu n'ensi (planets) mu nnaku mukaaga. Wabula, tusaanye okukimanya nti embala y'ebiseera bulijjo eyawukana okusinziira ku bunene bw'ekintu. Okugeza, olunaku lumu ku ssengendo Jupiter luba luwanvu okusinga olw'ensi Earth [kwe tuli], kubanga ebiseera bya Jupiter bitambula kasoobo olw'obunene bwayo.

Awatali kuwandiika Ayah zonna olw'obugazi bw'ensonga eno; ebiseera bya Allah abibala akozesa Ntebe ye, Arsh — eyo ennene n'okusinga zissenngendo zonna nga zigattiddwa. Bwe tugatta obujulizi obulala ku Ayat gye tutandisizza, tulaba nti olunaku lumu mu Jjana oba mu Muliro lujja kwenkana emyaka 1000 mu mbala y'egyaffe. Wabula olw'okutonda lwenkana ki?

Bwe tutemaatema emyaka obuwumbi obusukka mu 13 mu bitundu 6 okuva ku ntandikwa y'okutonda nga Bannassaayansi bwe bakirambika; kirabwa nti ensi yaffe efunako ebitundu 2, n'ebina ebisigadde, teyaliiwo. Ne Hadiith ziraga nti ensi yaffe yatondebwa mu nnaku 2 kw'ezo omukaaga Allah mwe yatondera n'eggulu.

Wadde nga olunaku lw'omu Jjana lwenkana emyaka gyaffe 1000, mu ky'okutonda, olunaku ewa Allah lulimu emyaka gy'okunsi obuwumbi obusukka mu bubiri; n'akatikitiki ke kenkana emyaka gyaffe 27,000. Era mu mbala Ye, tukyali mu lunaku lwa mukaaga, n'olw'omusanvu lunaatera — OLW'ENKOMERERO!

Ibraheem Ahmad Ntakambi II

LWAKI OLUMU ABAFUMBO BASSIBWAKO ENSALO?Lwakutaano | Shawwaal (Gwakkumi) 26, 1443AHBitwala eddakiika 1½Wadde nga ssi bwat...
27/05/2022

LWAKI OLUMU ABAFUMBO BASSIBWAKO ENSALO?
Lwakutaano | Shawwaal (Gwakkumi) 26, 1443AH
Bitwala eddakiika 1½

Wadde nga ssi bwatteeka, obufumbo bubalwa mu bikolwa by'Obusiraamu eby'okutendereza era buli kibubaamu kivaamu empeera.

Y'ensonga lwaki n'abavubuka bakubirizibwa okubweyunira ku myaka emito. Katonda yassaawo ebbeetu eri abafumbo okusisinkana mu kaseera we baba bakkaanyirizza:

نِسَآؤُکُمْ حَرْثُ لَ٘کُمْ فَأْتُوا حَرْثَکُمْ أَنَ٘ی شِئْتُمْ
"Abakyala nnimiro zammwe (abaami); kale muzeesogge wonna we mwagalira" (al-Baqara 2:223)

Wabula ekibuuzo kya leero kiri nti, lwaki ebikolwa bino tebikkirizibwa mu kusiiba ne mu kukola Hijja, era ne biba nga bitta Ibaadah ezo?

Eky'okuddamu kigeraageranyizibwa ku mmere eyeetaagibwa buli omu ate buli kaseera. Olw'okulaga obwewombeefu obwaddala ku bintu ebitambuza obulamu, Katonda yassaawo envumbo okukakasa abamutya.

Nga tusemberedde omwezi gwa Hijja, kaba kaseera kagere wabula nga ky'ekinyusi ky'ebibala ebitakoma. Kuba kwegumya leero, ku lw'okujaguza okw'enkya.

Ibraheem Ahmad Ntakambi

SITAANE ZONNA ZISIBWA MU KISIIBO? NEDDA! SOMA PPAKA GYEBIGGWEERAWaliwo yirimu etera okwesigalizibwa Abayivu mu Ddiini ol...
01/04/2022

SITAANE ZONNA ZISIBWA MU KISIIBO? NEDDA! SOMA PPAKA GYEBIGGWEERA

Waliwo yirimu etera okwesigalizibwa Abayivu mu Ddiini olw'okubanga eba nzibu ya kunnyonnyola, oluusi nga beewaza abantu okufuna ebyekwaso.

Mu bigambo bya Nnabbi Muhammad ﷺ, waliwo ebigamba nti:
إِذَا دَخَلَ رَمَضَانَ... وَسُلْسِلَۃِ الشَ٘یَاطِ‍‍یْنِ
"Bwe guyingirawo [omwezi gwa] Lamanzaane... ne zisibwa [ku njegere] zisitaane" (Bukhaari, Mus-lim).

Bwe twetegegereza Hadiith eyo, temuli kagambo کُلُ٘ (zonna [sitaane]). Weebuuze, lwaki olumu wandisigala nga owulira okukemebwa ng'ate kiseera kya kusiiba?

Mu Ssuula an-Naas, 114:4, waliwo busitaane obwogerwaako nga buno butondebwa bwekutte ku buli mutima gwa muntu omuli ne Bannabbi. Bwali bwana bwa kabaka wa zisitaane, Ibliis — nga buyitibwa Khannaas (Min Sharril Was-waasil 'Khannaas').

Tujja kwongera okukuwa ebyafaayo bya busitaane buno mu Post zaffe ezinaddirira. Okujjukiza: Okusiiba kukakafu ku buli Mukkiriza, kale tukwagaliza Ramadhan ey'emikisa!

Ibraheem Ahmad Ntakambi

ENKIZO Y'OMUKYALAWaliwo abagenda babuusaanya nti Obusiraamu busosola abakazi nga na kino kiva ku kuba nti tebakkirizibwa...
08/03/2022

ENKIZO Y'OMUKYALA
Waliwo abagenda babuusaanya nti Obusiraamu busosola abakazi nga na kino kiva ku kuba nti tebakkirizibwa kusaaza. Nga tetunnagenda wala, ekyo kibaawo lwa kukuuma kitiibwa kyabwe — nga ne mu byafaayo tebangayo Nnabbi mukazi okuggyako nga mufere.

Okuva ku Adam; awataali mukyala, ensi yandibadde kyangaala. Ku mulembe gwa Yisa, tewandibadde kwakayakana. Ne ku mulembe gwa Muhammadi (emirembe gibe ku bonna), Eddiini eno oba oli awo teyandisaasaanye.

Teri nzikiriza eragira kwagala maama ebitundu 75% nga Busiraamu. Ne mu bivunaanwa ku basajja, ekitonde ekikazi kiri ku mwanjo. Buli omu asaana okujaguza okubaawo kw'abakyakala, kubanga n'emize egyaava mu bazungu nga bavumbula Africa — gyasibuka mu butajja wadde na mukyala — kyokka nga Eddiini ya Allah egivumirira.

Mu kaseera kano, abakazi balwanira balwanire mu Buyindi olw'okubattanga emyaka nga 200 egyayita kyokka kikyabakosa. Eri ow'amagezi ag'ewala, tekikutwalira kadde kulowooza ku nsonga lwaki Abawarabu baagala bawala baakuno, kubanga ekyali mu India nayo kyaliyooko.

Olw'okubanga waliwo enjawulo y'okuba Omuwarabu n'Omusiraamu, tekitulobera kwogera mazima nti abamu bakwatirwaayo. Abakyala ttaala, w'etali ensi ebuutikirwa ekizikiza!

Ibraheem Ahmad Ntakambi

WUUNO NNABBI EYAKOLA OBUWUNDOMu bubonero bw'Omubaka Yeesu obukuukuutivu, mwalimu okuba nga ye muntu eyakola obuwundo — k...
07/03/2022

WUUNO NNABBI EYAKOLA OBUWUNDO
Mu bubonero bw'Omubaka Yeesu obukuukuutivu, mwalimu okuba nga ye muntu eyakola obuwundo — kyokka nga kino tekitera kwogerwako olw'ensonga nti Kulaane yakiyita ku mabbali.

وَإِذْ تَخْلُقُ مِنَ الطِ٘یْنِ گھَیْئَۃِ الطَ٘یْرِ بِإِذْنِی، فَتَنْفُخُ فِیْھَا تَکُوْنُ طَیْرًا بِإِذنِی
"Era jjukira (Isa) bwe wakola okuva mu bbumba, ekintu ekyefaananyiriza ekinyonyi ku lw'Okusalawo Kwange (Katonda); n'okifuuwamu ne kifuukira ddala nga ekinyonyi ku lw'Okusalawo Kwange..." [al Maa-ida, 5:110].

Mu nnamula y'Obuyisiraamu, obuwundo buli Haraam okubaako n'ekintu kye bukozesebwa — okugeza, okubulya; ssi kaakuba nga eriyo ababulya. Kino kitonde ekijjudde obusagwa era kisaanye okwewalibwa, okuviira ddala ku bikivaamu.

Obuyinza bwa Katonda, nga n'ebisinga yabikola okulaga amaanyi ge wabula abasinga obungi ne batamukkiriza — wazira ne batenda oyo gwe yasiimanga okussaako obubonero bwe. Mu byonna, asigala ye Muyinza era Omulunngamya.

Ibraheem Ahmad Ntakambi

ENGERI OBUSIRAAMU GYE BUKYUSIZZA TEKINOLOGIYANg'oggyeeko eky'okulyowa emyoyo, waliwo engeri Eddiini ya Katonda Omu gy'ez...
04/03/2022

ENGERI OBUSIRAAMU GYE BUKYUSIZZA TEKINOLOGIYA

Ng'oggyeeko eky'okulyowa emyoyo, waliwo engeri Eddiini ya Katonda Omu gy'ezze ekyusa ensi, wabula ku luno tuli baakutunula ku nsonga bbiri zokka;

1. Obuyonjo
Okuva edda, abantu omuli n'abanene abeeyonjaako abalara we balaba — tebaafanga ku kyakutwala mazzi mu buyu; kyokka nga kino kikontana n'amateeka g'Obuyisiraamu.

Mu Uganda, tekwali kuwubisibwa Ekitongole Ky'ebya Kazambi okuweebwa ogw'okuvunaanyizibwa ku mazzi (National Water & Sewerage Corporation).

Bino byava mu ssaayansi ow'omunda eyazuuka mu biva mu buteetukuzisa mazzi nga n'oyo afumintiriza amanya ekiddako ne bwe tuba tetukikoolobezza.

2. Okubala
Olumu bangi beebuuza ekireetera ssizoni okukyuka. Ng'omwaka gw'Ekizungu guggwaako, lwaki bwanguwa okuziba?! Eky'okuddamu kiri nti, kuba kujingirira bibalo bya ntambula y'enjuba n'omwezi. Ebisingawo bisange ku Page yaffe, Emmyanso; The Illumination.

Wabula mu Ddiini eno, waliwo obubonero, okugeza; singa omwezi (moon) guboneka nga olwala lw'engalo, tumanya nti omupya (month) guyingidde, bwe gwesalamu, tumanya nti tugutuuse wakati; ekitali walala.

Kati nno embala esinziirira ddala ku bubumbwa (Geography) esomwa mu kimpoowooze — kwe kuwulira nti "mulindeeko okusiga wadde nga kiseera kya nkuba". Okkiriza Katonda? Gamba nti:

الْحَمْدُ لِلٰ٘ہِ عَلَی نِعْمَۃِ الْاِسْلَام
"Amatendo ga Allah olw'ekyengera ky'Obusiraamu"
Ibraheem Ahmad Ntakambi

AGAAKAGWAAWO: DDALA QURAN EKYUSIDDWA?Bya: Ibraheem Ahmad NtakambiWaliwo obubaka obutandise okusaasaanyizibwa ku musinde ...
01/11/2021

AGAAKAGWAAWO: DDALA QURAN EKYUSIDDWA?
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi

Waliwo obubaka obutandise okusaasaanyizibwa ku musinde ogwayiriyiri nga bwoleka nga Kulaane bw'ekyuusiddwa.

Gye buvuddeko, ekikolwa kino kyagezaako okukolebwa ng'eggwanga lya America ly'elikiri emabega nga bagamba nti baagala kuzza Quran ku mutindo gwaayo oluvannyuma lw'okukyuusibwa omusika wa Nabbi, Uthman.

Ekitabo kino ekitukuvu, oluusi kiyitibwa 'Mushaf' era erinnya lino kkakafu, wabula ekipya kigambibwa okuba 'Mutallatut-Tauhiid (Moutalat at-Tauheed) — ekikyuusakyuusa mu bigambo ebimu n'ekigendererwa ky'okusaanyaawo Obusiraamu.

Mu kunoonyereza kwe tukoze, ensonga ssi nkakafu wabula bwe wanaabaawo amazima ge tuzuula ku yo, tujja kuba tukutegeeza mu butongole... Ekyebuuzibwa, lwaki Google etukugira ekigambo ekyo?!

KAAKANO AKALOMBOLOMBO AKATAKYATUUKIRIZIBWA, KADOBONKANYA ABASIRAAMU 98%Bya: Ibraheem Ahmad NtakambiAbakkiririza mu Ddiin...
24/10/2021

KAAKANO AKALOMBOLOMBO AKATAKYATUUKIRIZIBWA, KADOBONKANYA ABASIRAAMU 98%
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi

Abakkiririza mu Ddiini eyaleetebwa Muhammadi ﷺ, beeyongedde okufuuka ebyeneena buli lukya olw'okubuusa amaaso enkola eyandibaddengawo ku buli luzaalo.

Ng'oggyeeko okukifuula oluyimba nti Abasiraamu banyumirwa okukubawo ezzadde buli mwaka, Quran ekirambika nti kirungi omwana n'ayonsebwa emyaka ebiri egijjudde, olwo abazadde ne balowooza ku ky'okuzzaako.

Ekikulu mu byonna, Omubaka mu Hadiith za Muslim ne Bukhaari enkakafu, akirambika nti buli mwana yandisaddaakiddwa ekisolo ng'azaaliddwa — abalenzi bwe biba ebisolo ebitonotono, okugeza embuzi oba endiga; zirina kuba bbiri sso ate abawala eba emu. Kitegeeza nti buli muntu nga tannazaala, yandirafuubanye okwetegekera bino, abangi kye batafaako.

Ekigendererwa kya saddaaka eyo (Aqiiqa), kuba kwelulira mwana ekkubo ettangaavu ng'omuntu ayita mu kwebaza okw'engeri eno. Awatali kuwannaanya, ekyo bwe kiba kigyeemeddwa, Allah yalayira okussaawo okuzikirira (Soma Ibrahim, 14:7). Ky'ekiviiriddeko abaana b'Abasiraamu okufuuka emisege mu nsi.

Ye Katonda taba musobya kubanga aba yalabula dda. N'olw'ekyo, buli omu akubirizibwa okwetikka omugugu gw'anaasobola. Obusiraamu busigala nga bwangu ku buli yenna alina okufumintiriza okwewala, ne Katonda tasaasira babuyabuya (Ar-Ruum, 30:44-45).

ENDABIKA YA MUHAMMAD ﷺ N'EKIRI EMABEGA W'OKUMUKWEEKABya: Ibraheem Ahmad NtakambiEnfunda ziwera essatu nga wabalukawo okw...
23/10/2021

ENDABIKA YA MUHAMMAD ﷺ N'EKIRI EMABEGA W'OKUMUKWEEKA
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi

Enfunda ziwera essatu nga wabalukawo okwekalakaasa mu Basiraamu mu nsi yonna, nga kino kyasemba okubaawo mu 2013 — olw'okwolesa ekyenyi ky'Omubaka mu ssineema.

Zino z'ensonga enkulu ezigendererwa mu kyo, nga ziweebwa abayivu mu Ddiini eno:
• Okukuuma ekitiibwa ky'Obwannabbi n'okubikkirira obumogo bwe ng'omuntu.
• Okwewaza abantu okutendereza ebifaananyi bye nga bwe baakola ku Batume abaasooka.

Oluvannyuma lw'okukunngaanya obujulizi okuva mu Ayat ne Hadiith ez'enjawulo, tukuleetedde enfaanana ya Muhammadi (okusaasira kwa Katonda kube ku ye n'emirembe gye), nga nkakafu era temuli kukwekerera kwonna:

1. Omutwe
a) Yali yakuza enviiri, nga mpanvu era zaali nzirugavu.
b) Yalina omusiwa ogwesimbanga mu kyenyi naddala ng'asobeddwa.
c) Amaaso gaali ga ndege, agaasukka ku kuba amatono.
d) Ennyindo yali nsongovu ng'era ez'Abawarabu.
e) Omumwa gwali gwa kigero n'amalibu awaava amannyo g'omumaaso abiri.
f) Amatu ge gaali wakati w'okuba amanene n'amatono.
g) Yalina ekirevu ekiwanvu era ng'akirabirira bulungi.

2. Ebitundu ebiddirira
✓ Ensingo yali yaawakati; teyali mpanvu ekisusse.
✓ Yalina enkovu eyeeramba mu kifuba okutuusa okufa.
✓ Obugalo (nnasswi n'obulala); n'obugere bwali bumpi ng'ate bugazi.
✓ Enjala yatera okuzikuuma nga nnyimpimpi.

Ebilara
i) Yali musajja waakigero, wabula nga waakiwago.
ii) Omubiri gwe omweru gwali gujjudde olwoya olusaamusaamu.
iii) Yavangamu akawoowo kaatekubanga, era yatunuzanga bupoole.

ENNAMULA KU BIWAYILwakuna – Rajab (Gwamusanvu) 20, 1442 A.H. | 02:25 p.m. EAT.Eddakiika 1; Bismi-Llah!Obusiraamu bulimu ...
04/03/2021

ENNAMULA KU BIWAYI
Lwakuna – Rajab (Gwamusanvu) 20, 1442 A.H. | 02:25 p.m. EAT.
Eddakiika 1; Bismi-Llah!

Obusiraamu bulimu ebibinja 2 ebikulu:

1. Sunni
Kiva mu kigambo Sunna, ekitegeeza "obubumbwa.''
Kikkiriza nti Muhammad ye Nnabbi eyasembayo. Kirimu abagoberezi bayitirivu, 90%.

2. Shia
Bagamba nti Gabudyeeri yassa obubaka ku Muhammad mu butanwa, era bwali bulina kuba bwa mwana, Ali, gwe yali alabirira.

Abalala, okugeza, mu ba Sunni; mulimu ba Hammadiyya — nti be bakyasinze "okwekwata ku Muhammad'', Tabligh [Abatabbuliiki] — ekigambo kitegeeza "kutuukiriza'', Salaf n'abalala.

Abamu balina n'ebibinja ebirwaanyi, tugeze, Hizbu-Llah (Eggye lya Allah), Boko-Haram n'ebindi.
E Uganda nabyo weebiri; omuli eky'e Kibuli ekiwakanya ekya Kampala Mukadde, ekikolera ku bwa M***i obw'abo abeemanyi.

Wabula ennyiriri za Kulaane ez'enjawulo, zikirambika nti byonna birina kubeera wamu awatali kuwakanya Jibriil, era buli nsoga egoonjolwenga mu bwenkanya.

Soma: al-Baqara, 2:213; ali Imraan, 3:105; ar-Ruum, 30:31-32.
Ibraheem Ahmad Ntakambi II

Ebitendo by'EjjanaBya: Ibraheem Ahmad NtakambiBbalaza - Gwakubiri 1, 2021 | 08:20a.m.Bitwala Eddakiika 1; Tusimbudde!Aba...
01/02/2021

Ebitendo by'Ejjana
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi
Bbalaza - Gwakubiri 1, 2021 | 08:20a.m.
Bitwala Eddakiika 1; Tusimbudde!

Abakozi b'ebirungi bulijjo basuubizibwa Ejjana, ne basigala mu kwebuuza, butya bw'efaanana.
Kyakakasibwa nti ku nsi teri kigyefaananyiriza okuggyako erinnya lyayo. Ebifaananyi bitukubirwa okusobola okutuggya mu butamanya obwandibuutikidde:

4. Ennimiro Ez'emirembe teziri mu ggulu! Zo ziri wala okuva n'erisembayo we liri. Ebisenge byaazo, y'Entebe ya Katonda ow'obuyinza, Arshi.

3. Ejjana kkalina ya myaliriro 7, nga n'ogusembayo gwe gw'ebbeeyi, Al-Firdaus. Ekyewuunyisa, alisembayo okufuna akatono, alifuna ebirungi ebisinga; ebyali, ebiri n'ebiriba mu nsi.

2. Erimu ebitanda, emigga gy'omwenge ogutatamiiza, nga n'empooma ekira ku y'omubisi gw'enjuki; kw'ogatta n'amazzi agalinyweebwa omuntu n'ataddamu kulumwa nnyonta.

1. Abantu abaligibaamu balivubusibwa - eyafa nga muto n'omukadde. Eribaamu bafumbo, nga n'abawala baayo bandizirisizza ebitonde singa beesowolayo - olw'obulungi bwaabwe.

Emirimu gy'Eddiini Egisunguwaza AllahBya: Ibraheem Ahmad NtakambiLwakuna - Gatonnya 7, 2021 | 3:50p.m. EAT.Bitwala Eddak...
07/01/2021

Emirimu gy'Eddiini Egisunguwaza Allah
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi
Lwakuna - Gatonnya 7, 2021 | 3:50p.m. EAT.
Bitwala Eddakiika 1; Bismillah

Waliwo ebintu ebikolebwa okusanyusa Katonda, kyokka nga byandiviirako n'okuyingizibwa omuliro:

1. Shahada
Abasiraamu bangi baatula nti, "ash-hadu anaa muhammada rasuulu Llah'', ekiri mu bukyaamu.
Anaa kitegeeza "nze''. Akyoogera, aba yeekakasaako bwannabbi! Kirina kuba Anna [mazima], ekitawangaala. Gamba: nkakasa nti "mazima'' muhammadi mubaka wa Allah, so si: ...nze... ndi mubaka...

2. Edduwa y'omwaka
Wadde ng'abamu bakkiriza eky'obutavuma myaka, tebannakikwata nti 0busiraamu bulina embala yaabwo. Singa abatabukkiriza bakuyozaayoza, obaddamu bulungi, naye si ggwe kukikuliriza, kubanga oba ng'abuwakanya. Ekyo kizibu kumenyawo; Kale twesabire bulunngamu.

3. 0kulwanirira Eddiini
Ennyiriri zakkanga okusinziira ku mbeera eyabanga etuuseewo.
Enzikiriza eno yajjuzibwa; era entalo eziri mu mateeka, z'ezo eziba wakati w'omyoyo gwo ne sitaane. Eby'okuttinngana byayita!

"LOVE'' Y'EJJANABya: Ibraheem Ahmad NtakambiLwakuna - Rabii'ut Thaan (Gwakuna) 25, 1442 AH | 08:25 EAT.Bimalirizibwa mu ...
10/12/2020

"LOVE'' Y'EJJANA
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi
Lwakuna - Rabii'ut Thaan (Gwakuna) 25, 1442 AH | 08:25 EAT.
Bimalirizibwa mu ddakiika emu; Bismillah...

Wali otuddeko awo, n'ofumintiriza ku bulamu obutalibaamu kukakaalukana wadde okunakuwala?

Tebuli wala, era empeera yo ekulindiridde! Kiriba kiseera kya kujaganya, kwetawula mu buli kanyomero; nga n'omukwano ogw'ekimmemmette gukulukutira ku nsulo z'omutima gwo!

W'osomera bino, waliwo obuwala obukwesunga (Q78:33), obutudde eyo mu buti, awakuntira oluwewowewo lw'okwagala. Singa akamu kasowolayo nnasswi yaako, ebitonde byandizirise olw'obulungi bwayo... Butya nga kako ku bubwo?

Tewaliba azimba mutima olw'essanyu lyammwe, wabula okweroboza. Abakyala! Abaami baakusukka! Ku bye twandiyogedde, teri kifaanagana n'Ebyennimiro ziri, okuggyako erinnya, Al Jannah.

Ebyo n'ebisingawo, si bizibu byakufuna ng'abamu bwe bakitwala. Eky'okukola kiri kimu - Kukkiriza; ebirara ne biryooka bigoberera!

Atenderezebwa Katonda, Oyo eyajjuza Eddiini Busiraamu!

OKULWANYISA EFFUGABBIBya: Ibraheem Ahmad NtakambiLwakutaano - Rabii'ut Thaan (Gwakuna) 12, 1442 AH | 12:30 EAT.Bitwala e...
27/11/2020

OKULWANYISA EFFUGABBI
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi
Lwakutaano - Rabii'ut Thaan (Gwakuna) 12, 1442 AH | 12:30 EAT.
Bitwala eddakiika emu; Bismillah...

Ddembe lya bwebange eri omukkiriza okwenyigira mu kuwakanya okufugibwa, singa afuna enkyukakyuka ez'obutonde.

Bannabbi, baakoleranga ku bukulembeze, kubanga bwo bubaamu okulumirirwa obulamu bw'abantu.

0kufuga tekubaamu kufa ku bakulemberwa, era tebaba na njawulo ku baddu abalangibwa obwemage.

Al An-biya, 21:73;
"Era bagenda okutumwa nga balina kwesigamira ku Kiragiro Kyaffe...''

Katonda akubiriza obukulembeze obulungi, n'awa ebbeetu eri abo abanyigirizibwa okwerwanako.

Kyagendererwa okugerera Abatume akabanga akatono - bateekeyo okufaayo ate baleme okwetamibwa.

Eyasembayo, yaweerereza emyaka 23 gyokka, naye nakati Eddiini gye yalekawo ekyatinta.

Tekiri nti okujjukirwanga kuva mu kulwa ku ntebe. Kwo kuva mu bibala eby'enkyukakyuka eba ereeteddwa!

Buli omu kayeenyumiririze mu nsi ye; emirembe n'enkulaakulana egasa, bijjewo.

LWAKI ABAKADDE TEBALIYINGIRA JJANA?Bya: Ibraheem Ahmad NtakambiLwakutaano – Rabiiul-Awwal (Gwakusatu) 20, 1442 A.H. | 21...
06/11/2020

LWAKI ABAKADDE TEBALIYINGIRA JJANA?
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi
Lwakutaano – Rabiiul-Awwal (Gwakusatu) 20, 1442 A.H. | 21:15 EAT.
Ebiseera: Eddakiika emu.

Kyayogerwa kkaate mu Hadiith, nti teri muzeeyi yenna – awatali kusosolamu baami oba abakyala – agenda kuyingira Jjana!

Waaliwo omu ku bakazi abaali abasaale mu kutukuza Emirimu gy'Eddiini, eyasoberwa oluvannyuma lw'okukakasibwa ensonga eno, kubanga ly'ekkowa mwe yali agwa.

Essanyu lyabuna ng'annyonnyoddwa ekigedererwa: Kuliba kutootowaza abo abaliba bakuliridde, n'okukuza abajjululwa ng'ebitabo byabwe tebinnaba kuggulwa.

Buli omu aligiyingira nga muvubuka; anti essanyu lisinga kuwoomera mu myaka egyo... Eri abaliba baafa nga bato, baliragirwa okwesogga omuliro.

Akabonero akaliyolesa abandibadde abagyeemu, kwe kuwakanya Ekiragiro ekyo, era balitwalibwa ku mpaka. Abaliba bakkirizza, baliggyibwaayo ne boolekezebwa eri Ennyumba Ey'emirembe – gye balisanyukiranga olubeerera.

Katonda waffe! Tuwenga okusanyuka mu nsi, ne ku Lunaku Lw'okulamula!

OBUBONERO BWA QIYAAMA OBUNENE BUTANDISEBya: Ibraheem Ahmad NtakambiMuharram (Ogusooka) 20, 1442 AH | 05:25 EAT.Saddaaka:...
08/09/2020

OBUBONERO BWA QIYAAMA OBUNENE BUTANDISE
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi
Muharram (Ogusooka) 20, 1442 AH | 05:25 EAT.
Saddaaka: Ddakiika 1.

Olw'obukulu bw'Obusiraamu, waliwo ebintu nkuyanja ebizze birabwako, naye nga byayogerwa emyaka mingi egyayita:

• Yo ensi etandise okukyuka ng'edda mu bugwanjuba, ekigenda okuleetera omusana okuva gye gubadde gugwiiranga.

Bwe twetegereza obulungi, akafo kennyini we gwaasibukanga mu 2010, si we guviira essaawa ya leero!

• Waliwo Ogusolo mu kikula ky'omuntu ogutandise okulengerwa mu ssemayanja Pacific, abakugu gwe bateebereza okuba Masiihi Ddajjaal.

Ono waakutigomya ensi okumala ennaku 40; ng'olusooka lwakwenkana omwaka, olwokubiri omwezi, olwokusatu sabbiiti, n'endala zibe ng'ezaabulijjo.

• Enteekateeka z'Abatakkiriza ez'okumenya Kabah teziyinza kuggwa - kyokka nga nakyo kyayogerwaako nti erimenyebwa.

Obubonero nga: bannabbi ab'obulimba, ebisiyaga n'obulala; bwalabwanga ng'obutasoboka mu mirembe egyasooka.

Eri oyo yenna afumintiririza ewala, kaba kaseera ka ttendo okuzza omutima gwe eri Katonda, yenyweereze kw'ekyo ekinaamuyisaawo.

ENJAWULO YA NABIY NE RASUULBya: Ibraheem Ahmad NtakambiLwakusatu – Muharram 14, 1442 A.H. | 12:16 EAT.Y'eddakiika 1 ey'e...
02/09/2020

ENJAWULO YA NABIY NE RASUUL
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi
Lwakusatu – Muharram 14, 1442 A.H. | 12:16 EAT.
Y'eddakiika 1 ey'ekitangaala ekisingayo; Bismillah...

Bannabbi (نبى) ne Ba-Rasuuli (رسل) baasoba mu 124,000; wadde Kulaane yatusiinyaako 25 bokka - olw'obutazitoowereza Bakkiriza [al-Baqara, 2:256].

Abantu abasinga, tebatera kwawula makulu ga bigambo ebyo byombi - era ge tugenda okusomako olwaleero:

Nabiy ye muntu eyafunanga obubaka okuva mu ggulu, wabula ne bugasa ye n'abantu be abookumwanjo.

Rasuulu y'oyo eyatumwanga eri ab'eggwanga lye. Eyasindikibwa eri ensi yonna y'eyasembayo, Muhammad (S.A.W), ng'awumbawumba ebyayigirizibwa ebyasooka.

Rusul, Abatume, baali mu 317. Olw'ensoga ez'enjawulo, Omutonzi yakigenderera okuba nga bonna baali basajja.

Kale Rasuul aba Nabiy, naye si nti buli Nnabbi aba Rasuula/Mutume! Ku mulembe guno, bangi balimba nti Babaka olw'okukozesa amaanyi g'emizimu, abandi ne basinziira ku birooto.

Kituufu! Eriyo n'eby'obwaKatonda, naye tekiba kwetuuma ekyo ekitali kyaddala!

MUNNASSAAYANSI W'OBUSIRAAMU EYASOOKABya: Ibraheem Ahmad NtakambiDhul-Qa'dah (Gwa 11) 24, 1441 | 10:01 EAT.Tebisukka ddak...
15/07/2020

MUNNASSAAYANSI W'OBUSIRAAMU EYASOOKA
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi
Dhul-Qa'dah (Gwa 11) 24, 1441 | 10:01 EAT.
Tebisukka ddakiika 1; Tutandike!

Idris Ar-Ukhnukh/Enoch ye yavumbula enkyuka y'ensi, omusana, omwezi; n'ensisinkano yaabyo mu bwolekero obumu (okulwana).

Erinnya lye litegeeza "Omuvvuunuzi'', nga lyogerwa mu Kulaane emirundi 2. Yali Nnabbi waakubiri, eyazaalibwa mu Babulooni nga Adam wa myaka 308, era yali abuzaayo 692 ku nsi.

Ng'atumiddwa ku myaka 40, yagoberera ebyassibwa ebyaliwo ku mulembe gwa jjajja we. Edirisa yali Artist wa byakwewunda.

Kitaawe yali Yarid, nnyina - Barkanah, omukyala Adanh, n'omutabani Methuselah; eyazzukuza omubaka owokusatu, Nuuhu (Noah).

Nakati Eddy mulamu eyo mu Jjana, wabula mu Kiro ky'Obugenyi bwa Muhammad [SAW] mu ggulu, yakka ku lyakuna kw'ago omusanvu.

Mu bukujjukujju, yasaba okuttibwa Malayika mbu yeegezesengamu; n'alaajana okutwalibwaayo era n'agaanirayo, ng'akakasa nga bwe yali amalirizza emitendera gy'okutuukayo, omuli n'ogw'okufa...

EBYEWUUNYISA BY'ENTEBE Y'OMUTONZIBya: Ibraheem Ahmad NtakambiShawwal 7, 1441 AH | 10:26 EAT.Eddakiika: 1.Abasiraamu bang...
30/05/2020

EBYEWUUNYISA BY'ENTEBE Y'OMUTONZI
Bya: Ibraheem Ahmad Ntakambi
Shawwal 7, 1441 AH | 10:26 EAT.
Eddakiika: 1.

Abasiraamu bangi batera okutankana ku Arsh, Entebe ya Katonda Ow'obuyinza.

Mu kuwanjaga gy'Ali, etera okukulembezebwa okusobola okusembeza omukwano gwe era ayanukulirewo, okugeza: ng'Edduwa y'omulwadde mu kifaananyi.

Nga bwe kirambikibwa mu Kulaane ne mu Hadiith ez'enjawulo nti Allah ayimiridde okulabirira ebitonde; tatuula ku Ntebe eyo!

Yatondebwa kulaga Maanyi Ge, nga y'esinga ebirara byonna obunene:
وَسِعَ كُرْسِيُ٘هُ السَ٘مٰوَاتِ وَالأَرْض
"Ebuutikidde - Entebe Ye, eggulu zonna n'ensi'' (al-Baqara, 2:255)

Arshi y'esemberayo ddala waggulu era y'Ebisenge by'Ennimiro Ensuubize [Jjana], ezaategekerwa abalongoofu.

Etangalijja mu langi naddala eya bbululu, eyo ku mazzi ag'emikisa. Ewaniriddwa Bamalayika 4 ab'amaanyi, buli omu ku mpagi ye.

Ebbanga eriri wakati w'okutu kwabwe okutuuka ku bibegaabega, kutwala emyaka 700 eri ekizungirizi okutambulawo. Mu maaso, eriyo ebigambo bya Shahadah ejjudde.

21/05/2020

OLUSIIBULA OLUKOMERERAYO:
Miranga myereere olw'okugenda kwo,
Ggwe abadde Mukwano gw'Abakkiriza,
Ekkubo ly'obulunngamu obutangalijja,
Mu biro byo ebijjudde emikisa,
Mw'otusembereza eri Omulezi w'ebitonde,
Ku luwo ne tuba kinnya na mpindi,
Era n'oba eddagala ly'okuwammanta mu nsi...
Omwagalwa asinga!
Tuusa ebisuubizo n'okuwanjaga kwange,
Eyo ewala gye ssiseeyeeyeza,
Wabula nga y'ensulo y'emikisa,
Egyo egimpa essuubi okutali kkomo,
Olw'obukuumi bw'engabo ebuutikira,
Kale oteranga n'odda mu bulamu!
Buli bwe ndowooza ku bulungi bwo,
Ndabira ddala Omukono ogw'ekitiibwa,
Oguteredde ku mukakasa wange,
Eyo mu Nnimiro ezeesiimisa,
Mu kucacanca okutakoma,
N'ebirungi ebitalojjeka,
Ddala Ramadhan kimuli ekisinga.
.

Address

Lugazi

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Ennamula y'Obusiraamu posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Business

Send a message to Ennamula y'Obusiraamu:

Share


Other News & Media Websites in Lugazi

Show All

You may also like