Sseke fm 107.8

Sseke fm 107.8 The big Radio station that broadcast in more than three languages Luganda English one radio station

Olunaku olwaleero eggwanga Uganda lijjukira Benedicto Kagimu Mugumba  Kiwanuka ng'ono yeyali ssaabaminista wa Uganda eya...
21/09/2022

Olunaku olwaleero eggwanga Uganda lijjukira
Benedicto Kagimu Mugumba Kiwanuka ng'ono yeyali ssaabaminista wa Uganda eyasokera ddala, yali mukulembeze wakibbiina Kya Democratic Party era nga yali omu kubantu abakulembera Uganda okuva mu kaseera k'obufuzi bw'amatwaale okutuuka ku independence.

Agaffa mubulemeeziJakana Nadduli mutabani wa munnansiko Hajji Abdul Ndduli atuusiddwa ku kkooti e Luweero okuwulira okus...
21/09/2022

Agaffa mubulemeezi
Jakana Nadduli mutabani wa munnansiko Hajji Abdul Ndduli atuusiddwa ku kkooti e Luweero okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa.
Jakana yaggulwako emisango gyokukozesa obubi omutimbagano, okukuma omuliro mu bantu n’emirala.
Hajji Nadduli n’amaziga gaamuyunguka ng’alaajanira munywanyiwe era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni amuddiremu, ajjukire gyebaava ayimbule mutabani we.

Ababaka ku kakiiko ka Parliament akakola ku by’obusuubuzi nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Hon Mwine Mpaka balambudde...
20/09/2022

Ababaka ku kakiiko ka Parliament akakola ku by’obusuubuzi nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Hon Mwine Mpaka balambudde ku kibangirizi ky’amakolero e Kapeeka mu Nakaseka.

Bano balambuziddwa minister omubeezi owabamusiga nsimbi Evelyn Anite wamu ne Gen Salim Saleh.

Anite ategeezezza nti enteekateeka y’okuzimba amakolero mu Kapeeka Industrial Park etambula bulungi nga kati amakumi abiri gakola kinnawadda.
fm updates.

Olwaleero nga 15 September, ge mazaalibwa ga President wa Uganda Ssaabalwanyi Gen (Rtd) Yoweri Kaguta Museveni Tibuhabur...
15/09/2022

Olwaleero nga 15 September, ge mazaalibwa ga President wa Uganda Ssaabalwanyi Gen (Rtd) Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa.
Yazaalibwa nga 15 September 1944, ng'olwaleero omukulu akoonodde emyaka 78 be ddu.
Twegatteko tumuyozeeyoze.

Byampuna!Kati emyezi etaano ng’ekizimbe ky’essomero lya Kifumbira Primary School e Mubende nga kiwedde okuzimbibwa naye ...
14/09/2022

Byampuna!
Kati emyezi etaano ng’ekizimbe ky’essomero lya Kifumbira Primary School e Mubende nga kiwedde okuzimbibwa naye abayizi bakyasomera mu bisiikirize bya miti!
Tukitegeddeko nti abakulu bakyalinda mukolo gwakutongoza kizimbe kino kiryoke kiggulwe abayizi batandike okusomeramu.
Enkuba bwetonnya abayizi beggama ku lubalaza lwakyo era nebakubira okwo!
Essomero lino lisangibwa mu muluka gw’e Kannyogoga mu ggombolola y’e Butoloogo mu district y’e Mubende.

Address

Kiwoko
Kiwoko

Opening Hours

Monday 09:00 - 17:00
Tuesday 09:00 - 17:00
Wednesday 09:00 - 17:00
Thursday 09:00 - 17:00
Friday 09:00 - 17:00
Saturday 09:00 - 17:00

Telephone

+256754524143

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Sseke fm 107.8 posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Business

Send a message to Sseke fm 107.8:

Videos

Share

Category