05/06/2022
EMBOOZI YA KADONGOKAMU
OBULAMU BWA JJAJA W'ABAYIMBI CHRISTOPHER SSEBADDUKA
________________________________________
•
JJAJJA W' ABAYIMBI CHRISTOPHER NTEGE SSEBADDUKA
Ayagala ennyimba za Kadongokamu tutuukirire ku WhatsApp namba 0700360045
Tusangibwa Kasubi ku Basookakwavula Stage
Wabula Ennyimba Tutunda Ntunde.
Please like and follow our page as well as Subscribing to our YouTube Channel
Muzungu David Kadongokamu Music Analyst
•
Christopher Ssebadduka amannya ge amatuufu ye Christopher Ntege Ssebadduka, yazaalibwa nga 5-10-1929 ate olwo n'afa nga 15-12-1997. Jjajja w'abayimbi yafiira ku myaka 68. Wabula nga 15-12-2023 lwagenda okuwezaza emyaka 25 bukyanga nakinku mu kuyimba afa.
•
Ssebadduka yazaalibwa abagenzi Matayo Kachwa Katovu n'omukyala Nagadya. Obuzaale bwa Jjaja w'abayimbi buli mu ssaza lya Ssaabasajja Kabaka ery'e Bulemeezi ku kyalo Kikyusa era eno Ssebadduka gye yazimba amaka ge aga muvubuka agunjuse. Wabula mu mwaka gwe 1980 Ssebadduka yawalirizibwa okuddukira e Buddu mu kikolwa eky'okudduka Appolo Milton Obote eyali atandiseewo ekiyigganya bayimbi abaali bamuyimbyeko ennyimba ezimukyokooza nga Amin amaze okumunaabira mu ngalo mu mwaka gwa 1971.
•
Christopher Ssebadduka nga ali e Butenga gye yali yawangangukira, eno gyeyasinziirira okw'ebika nga bwe yafa n'ekigendererwa nti gavumenti y'Obote emuveeko erekere awo okumunoonya. Amawulire gano ag'ekifere gasaasaanyizibwa omugenzi Sulaiman Mayanja eyakuyimbira ennyimba mpitirivu nga teweerabidde oluyimba lwe olwa Hirimu abasinga lwemumanyi nga Basiraamu Bannange. Sulaiman Mayanja ono ayogerwako yafa mu 1989 netumuziika e Bulamagi okuliraana n'akabuga k'e Nakibizzi ku luguudo mwasanjala olugenda e Jinja mu Busoga.
•
Christopher Ntege Ssebadduka baazaalibwa abaana bangi nayenga obudde buno wasigaddewo abaana basatu bokka nga bonna ba buwala.
•
Jjaja w'abayimbi nga abantu abalala naye ku ssomero yayitayo wadde nga teyagenda wala nnyo eyo etuuka abayivu. Okusoma yakutandikira ku ssomero ly'e Gayaza olwo oluvannyuma ne yeegatta ku Kiryagonja Bethlehem Memorial College nga eno gye yatuulira ekibiina kye eky'omusanvu. Okusoma kwa Ssebadduka wano we kwakoma olw'obufunda bw'ensawo anti maamawe ye yali amuwanirira. Taata wa Jjajja w'abayimbi yafa nga Ssebadduka akyali bbujje. Ntege ng'amalirizza ekibiina ky'omusanvu maamawe Nagadya yagwirwa ekimbe bwekityo Ssebadduka n'atasobola kweyongerayo kusoma.
•
Ssebadduka ng'okusoma kugaanye, yayiga endongo ya ssekitulege nga eno yamuyigirizibwa kojjawe kati omugenzi. Oluvannyuma nga afuuse nnakinku mu kunyonyoogera ssekitulege, Ssebadduka yatandika okw'eyigiriza guitar eyali embajje mu kiti nga eno yali ya mugandawe Ssemyoni Ssettimba kati omugenzi.
•
Endongo eno ey'enkoba essatu yagyefubako era gyagenda okuwera emyeezi ena, nga endongo eno Ssebadduka asobola bulungi okugiggyamu oluyimba.
•
Oluyimba olwaleeta Christopher Ntege Ssebadduka mu kisaawe ky'okuyimba lwafulumira ku jjinja (Record Player) mu 1957, era nga lumanyiddwa ng'Omukazi Malaaya tamanyi mukwano olwo emabega ku jjinja yateekayo oluyimba lwa Namwama Nkunku. Ejjinja lino lyafulumira mu kampuni enkwasi y'amayinja eya Opera Tom Tom nga eno yali esangibwa mu industrial area.
•
Oluvannyuma yazzaako ejjinja eryamanyibwa nga Bassekabaka ate nga ku ludda olulala kwaliko oluyimba lwa Nassolo. Olwo n'agobereza ennyimba endala mpitirivvu nga bwetugenda okuziraba mu maaso eyo.
•
Ssebadduka olw'erinnya lyeyafuna obudde obwo kyamuweesa omulimu mu Bank of Uganda. Eno yali akola nga office Messenger wabula omulimu guno yaguvaako nga teyeesiikidde kanyeebwa oluvannyuma lwa Obote okukomawo mu buyinza.
•
Mu myaka gye 1960(s) Sseekabaka Edward Muteesa yasiima Jjajja w'abayimbi n'amuwa ekirabo ky'ettaka nga amusiima okusomesa, okuyigiriza ssaako okulwaanirira obuganda ng'ayita mu nnyimba. Wabula oluvannyuma ettaka lino lyamuggyibwako abakungu ba Obote era yatuuka okufa nga terimuddizibwanga. Mu myaka gye 1980 nga gigwako, ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi obudde obwo nga akyali Ssaabataka naye yasisinkana Ssebadduka n'ekibiina kye ekya Entebe Guitar Singers n'abeebaza olw'omulimu omuyonjo gwebaayolesa mu budde obw'akazigizigi mu Buganda era yafundikira nga abawaddeyo ebbaasa wabula nga eno yeekomezebwa omu ku baali abakulu mu kibiina kino. Ensonga eno ey'okwekomya ssente zino yaleetera ekibiina kya Entebe Guitar Singers okweyuzaamu.
•
Omugenzi Christopher Ssebadduka yazaala abaana abali wakati w'abaana 14-15 naye nga obudde buno wasigaddewo abaana 10 bokka. Abaana bano Ssebadduka yabazaala mu bakyala banjawulo nga Fred Sseremba omuyimbi y'omu ku bbo.
•
ABAMU KU BAKYALA BA JJAJJA W'ABAYIMBI CHRISTOPHER NTEGE SSEBADDUKA
1. Cypranza Namuli, ono yazaalira Ssebadduka abaana 4 nga muno mwe muli Fred Sseremba n'omugenzi Ssendego, Sseremba gweyayimbako mu luyimba lwe olwa Nneeyanzizza. Omukyala ono Cypranza Namuli yafa mu 1991 n'aziikibwa e Kyalusowe Masaka.
•
2. Tereeza ow'ebbina eddene, Omukyala ono ye mukyala wa Ssebadduka eyasooka era gweyayimbako mu luyimba lwe luno olwa Tereeza. Omukyala yaakafa ebbanga eritali ggwanvu, yaziikibwa Ssegguku ku luguudo mwasanjala olw'Entebe. Okusinga omukyala ono yasinga kuwangaalira Bulaga ku lw'e Mityana. Tereeza yazaalira Ssebadduka Omwana omu amanyiddwa nga Waligo kati omugenzi.
•
3. Magrate Najjuma, mu bakyala ba Jjajja w'abayimbi bonna, Najjuma ye mukyalawe akyali omulamu ng'obudde buno awangaalira Kaleerwe mu Kampala. Najjuma Meega, yazaalira Ssebadduka abaana basatu.
•
EBYANYUMIRANGA JJAJJA W'ABAYIMBI
Ebimu ku bintu byeyali asinga okunyumirwa gwali mwenge era nga guno amanyi n'okugunywa okutuusa lwezimuggwako olwo n'alayira nga ye bwe yava ku mwenge. Naye ssente okwalinga okufunika nga addamu atandikira we yakoma.
•
Ekintu ekirala abakyala nabo baali banyumira nnyo Ssebadduka nga n'olumu ab'ekibiina kye ekya Entebe Guitar Singers baali bamwerabidde e Naluwerere mu district ye Bugiri ekisangibwa mu Busoga.
•
Ssebadduka okwawukana ku bayimbi abalala yali musajja mukkakkamu naye nga okuyiiya yali muyiiya wa kika kya waggulu nnyo. Obudde bweyafiira Ssebadduka ye yali omukubi wa Rhythm Guitar asinga era nti alina ne codes zeyali amanyi nga n'obudde buno tezizuulwanga.
•
ENNYIMBA N'OKUYIMBA KWA CHRISTOPHER NTEGE SSEBADDUKA
•
Ssebadduka yatikkirwa ekitiibwa ky'obwa Jjajja w'abayimbi mu October wa 1974 (nkusaba onoonye ku lupapula lw'amawulire aga Munno olwafuluma nga 29-7-1974 osobole okukakasa byenjogerako).
•
Oluyimba lwa Ssebadduka olukyasinze okutunda baluyita Tereeza. Ssebadduka agamba nti "nga mmaze okufulumya oluyimba luno mu studio ya Opera Tom Tom, buli lwakusatu n'olwokutaano nnagendanga nentuulako awo ku dduuka lya Tom Tom nsobole okusikiriza abantu okujja okugula amayinja nga n'omuyimbi waabwe bamulabako. Ekintu kino kyatukolera nnyo kubanga abantu nga bajja mu bungi ennaku ezo ebbiri zennalabikanga ku dduuka lino".
•
Ssebadduka ayongerako nti "Ejjinja lya Tereeza lye jjinja eryasinga okuntunda mu budde obwo olwo neriddirirwa ejjinja ly'oluyimba Wambuuza (Olupapula simupiira) olw'Omugenzi Firida Gwokyalya Ssonko. Weewo awo abayindi bankotoggera okumbuulira copy y'amayinja entuufu oluyimba lwa Tereeza lwe gatunda olw'obulyazaamaanyi bwabwe. Kyokka omu ku bakozi baabwe omunayuganda yanzibirako nti ejjinja lya Tereeza lyatunda amayinja agasukka mu mitwalo ekkumi n'ebiri (120.000). Mbu ate amayinja amalala agasoba mu mitwalo esatu gaali gakubiddwa nga obudde bwonna gaali gatuusibwa ku katale.
•
Jjajja w'abayimbi ye muyimbi akyasinze okuwa omukulembeze w'eggwanga obudde obuzibu nga yeeyambisa ndongo. Era ono mu byafaayo ye muyimbi eyasinga okukyokooza President Appolo Milton Obote. Obudde Amin bweyabeera mu buyinza mbu yavujjirira nnyo Ssebadduka asobole okukoona Obote.
•
Ssebadduka teyayimbira mu bibiina bingi okuggyako ekibiina kya Uganda Picking Guitarist omwali abayimbi nga: Omugenzi Gerald Mukasa, Omugenzi Matiya Kyakamala, Omugenzi Dominico Ssentamu, Omugenzi Loziyo Nnyago, Omugenzi Vicent Nsubuga, Bernard Nsubuga, Omugenzi Stanley Kyeeranyi, Stanley Kampalo, Dan Mugula, Paulo Ddamulira, Matiya Kakumirizi, n'abayimbi abalala bangi. Uganda Picking Guitarist kyagunjibwawo mu mwaka gwa 1969 nga bava mu bivvulu ebyategekebwanga radio Uganda ne National Theatre wansi wa ministry of culture.
•
Mu 1971, Ssebadduka yeegatta ku kibiina Kadongokamu and cultural company nga guno gwali mukago wakati wa Kadongokamu ne gavumenti nga bayita mu ministry y'eby'obuwangwa era nga baali bavujjirira gavumenti wansi wa ministry of culture.
Mu kibiina kino abayimbi bonna abaali mu Uganda Picking Guitarist baasala busazi eddiiro ne bajja mu kibiina kino ekipya. Eno abayimbi ba musaayi muto gyebaabegattirako okugeza nga: Minsuseera Ssegamwenge, Matiya Luyima, Deo Ssebuguzi, Vicent Muwonge, Moses Katende, Fred Ssebatta, David Kizito, Sulaiman Mayanja, Firida Namuddu, n'abayimbi abalala ntoko.
•
Kadongokamu Cultural Company kiri mu byafaayo nti kye kibiina ekikyasinze okubeeramu ba Star abangi obudde bwebumu.
•
Ekibiina Jjajja w'abayimbi kyeyasemba okukoleramu ye Entebe Guitar Singers nga eno yagyegattako mu mwaka gwa 1982 nga kyekijje kitondebwewo Matiya Kakumirizi.
•
EZZIMU KU NNYIMBA ZA JJAJJA W'ABAYIMBI
1. Omukazi malaaya tamanyi mukwano/
Namwama Nkunku 1957
2. Bassekabaka/Nassolo 1958
3. Nzikiriza nkomewo/Owoomukwano mwami 1960
4. Entuulirizi/Mwattu mwami 1960
5. Lidiya/Vva ku muka munno 1960
6. Josephine/Olulimi 1961
7. Ssaabasajja/Getulidda 1961
8. Abaagala abakyala/Jane 1961
9. Okweralikirira/Super Rose
10. Tereeza/Abaana abawala 1968
11. Bavubuka Bannange/Mu nsi gyempita 1968
12. Eddaame lya Chwa/Ngulira 1968
13. Olumbe/Saudah 1969
14. Birungi/Nga tulabye 1970
15. Sserukama mayute/Tweyanze nnyo 1971
16. Obufumbo/Nabiryo 1971
17. Obwavu Ttimba/Nantondo 1971
18. Amazima tegeekweka/Mmaali ya nnyoko 1972
19. Nakayenga/Ensi terina mayitire 1973
20. Mamali ya nnyoko/Ow'ebbango 1974
21. Oluwala olunyuunyuusi/Lulina Amayitire 1977
22. Bakampitire/Sitani mussi wa maka 1977
23. The best volume of Ssebadduka 1974
24. Eby'ensi eno
25. Nakiganda
26. Okwagala okungi
27. Yudita
•
Ennyimba ezo zonna waggulu zaafulumira ku mayinja nga ezimu zikyambuze.
Kati waliwo na zino wammanga
1. Abasuubuzi
2. Abatukulembera
3. Ebbeere erikwewuliza
4. Ebika by'Abaganda
5. Bannansi
6. Ensi ekyuka
7. Federal
8. Katonda ne Uganda
9. Kkoodikoodi
10. Leero mbyogedde
11. Mpulira nnyo byengamba
12. Obuwuulu
13. Ofumbye nnyo
14. Oyitangako gy'ozaalwa
15. Twebaze Amin
16. Uganda nnyaffe
17. Weeyagalira bwereere
18. Namaganda
19. Obukyawe
•
Ennyimba za Ssebadduka ezimu mutabaniwe Fred Sseremba agenze nga aziddamu okuzifuula ez'omulembe era nno naye mumuwagire bambi.
•
Ennyimba za Christopher Ssebadduka zonna osobola okuzifuna ku tterekero lyaffe ery' emboozi ya Kadongokamu music library and history centre. Tusangibwa Kasubi ku Basookakwavula stage.
Essimu
WhatsApp 0700360045
Oba 0783811781
Wabula ennyimba zino n' ebya Kadongokamu ebirala ntunda bitunde eby' obwereere nkyabinoonya bikyambuze.
•
Abantu bano bakoze kinene nnyo okulaba nti Emboozi ya Kadongokamu ebatuukako ku mukutu guno ogwa Muzungu David Kadongokamu Music Analyst.
1. Annet Namuyomba
2. Ssentongo Vicent
3. Sseguya Owen
4. Lutimba Matovu Godfrey
•
Alina obuyambi bwonna oba ayagala okulangira eby'amaguzi byo ku page eno sinakindi okuvujjirira ebiteekebwa wano (Sponsoring) tukwaniriza n' essanyu.
•
©
Muzungu David
ALL RIGHTS RESERVED
No part of this publication should be reproduced, recopied or transferred in any online means without the prior written agreement by Me;
Muzungu David
(under)
1. Emboozi ya Kadongokamu
2. Muzungu David Kadongokamu Music Analyst
3. Emboozi Ya Kadongokamu Music Library and History Centre