Tamale Buganda news updates

Tamale Buganda news updates Informations de contact, plan et itinéraire, formulaire de contact, heures d'ouverture, services, évaluations, photos, vidéos et annonces de Tamale Buganda news updates, Média, Mengo, Kampala.

OLWALEERO KATWEJJUKANYE KWEBYO EBIBEERAWO MU KUGGULAWO OLUKIIKO LWA BUGANGA. Nga Bwetweteekateeka Okubaawo Ssaabasajja K...
18/08/2023

OLWALEERO KATWEJJUKANYE KWEBYO EBIBEERAWO MU KUGGULAWO OLUKIIKO LWA BUGANGA.

Nga Bwetweteekateeka Okubaawo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Bwanaba Aggulawo olukiiko Lw'omulundi Ogwa 31 nga 21/08/2023 Ku Ku lwokusooka (Monday)eno Ku Bulange Mengo.

Ssaabasajja Kabaka Atuuka Era nayambala ekyambalo ekitongole Afuluma ebweru wa Bulange Nalamusa Mugyaguzo

Bwamaliriza Nayingira Mu lukiiko Lwa Buganda Era luba lukubyeeko Bugule omwo mubeeramu Abaami Ba Massaza,Abakiise,Baminisita Abagya,Abawummula Wamunaabo Abaliko, Nabagenyi Abenjyawulu Abo nga Basobola Kuba Ababaka Ba Palamenti,Abataka abakulu B'obusolya ne Ba Katikkiro Baawe,Abalangira na Bambejja, Nabagenyi Ba Kabaka Abayite.

Wabeerawo Okuyimba Oluyimba lwe Ggwanga,Okuyimba Ekitiibwa kya Buganda.
wabeerawo nokusaba okuva Mumasinzizo agengyawulo agali Mu Ugamda Kwolwo Okusaba kukulemberwa Enzikiriza Olukiiko lwe lubaba luloonze.
Ebyo Bwebigwa Katikkiro abeerako N'okwogera Okutonotono.
Awo Omuzindaalo Nagukwasa Avunanyizibwa Oba Minisita W'olukiiko Abagenyi Olwo Nayanjjula Abo Ssaabasajja Kabaka beyayatula amanya okuwereza okugeza Baminisita Abagya,Abakiise Mu lukiiko lwa Buganda,Wamu nabo Abakiise ebweru Wa Buganda ne Uganda 🇺🇬

Minisita bwamala okubayita Amanya ne bibakwatako Awo Nga beeyanza Obwami eri nnyunimu

Ekyo Bwekigwa Beene Asobola Akusiima nayogerako eri Obuganda awo Olukiiko Aluggulawo Mu butongole kyetuyita olukiiko olw'omulundi ogwa 31

Mubwangu ddala Enyimba ziyimbibwa olwe ggwanga olwa Buganda enyima bwezigwa kuba kufuluma lukiiko .
Ebifaananyi nga bikubwa eri abo Baminisita n'Olukiiko lwa Buganda lwonna.
Bwekigwa Omuterega Alamusa Mugyaguzo ebyo byonna bikolebwa Mu Ssaawa emu yokka Omukolo gwo kuggulawo Olukiiko lwa Buganda guba guwedde.

Ebyo byebimu kwebyo ebibeerawo ku lunaku olw'okuggulawo olukiiko lwa Buganda olukulu.

KATONDA KUUMA KABAKA WAFFE.

Olwaleeo Nga 31/07/2023 Tugyaguza Amatikkira  Ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Ag'omulundi Ogwa 30 Ng'alam...
31/07/2023

Olwaleeo Nga 31/07/2023

Tugyaguza Amatikkira Ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II

Ag'omulundi Ogwa 30 Ng'alamula Obuganda

Abantu Ba Ssaabasajja Kabaka Babade Bangi Ddala Okuva ebule Ne bweya

Abamu Kubano. Abaana B'engoma Abalangira Nabambejja Basaava Ne Banaava, Eyali Omumwuka Wa Pulezitenti Owek:Kiwanuka Ssekandi,Ba Katikkiro Abawemmula, Ssaabalangira,Ab'amassaza,Ababaka Ba Parliament,Ababaka B'olukiiko Lwabuganda,Abataka Abakakkulu Ab'obusolya, Bannaddiini, Ab'amagombolola,Abakungu Ba Ssaabasajja, Nabalala bangi

Omukolo Gubade Mu Lubiri e Mengo

Amatikkira g'omulundi Guno gabadde Kumulamwa Oguva Tuwagire Ebika byaffe tumyweze Namulondo

Awangaale Nnyo Omwana Wa Muteesa emyaka emirala mingi @30

Nga Twagaliza Ssaabasajja Kabaka AMATIKKIRA AG'OMULUNDI OGWA 30Katwejjukanye Kubyaliwo emyaka Etaano emabega 2018. Ku Ma...
25/07/2023

Nga Twagaliza Ssaabasajja Kabaka AMATIKKIRA AG'OMULUNDI OGWA 30
Katwejjukanye Kubyaliwo emyaka Etaano emabega 2018. Ku Matikkira Ag'omulundi owa 25 (Jubireewo)Omuterega Mweyakyaliza Omugenyi Owengyawulo Omukulembeze wenono Owe Ghana 🇬🇭 simulala

Asantehene Otumufuo Nana Osei Tutu II
Mubwa kabaka bwa Ashanti e Ghana (ZZO)

N'omukulembeze Omulala okuva e Sultan Nigeria 🇳🇬 Muhammadu Sa'ad Abubakar III owe Sokoto oyono yali omugenyi owengyawulo mu mwaka gwa 2019 Ku Matikkira Ag'omulundi Ogwa 26

30 Ffena Mu Lubiri e Mengo 31/07/2023 (1993-2023).

Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga Atongoza ekitabo ekirambika butya Ennyimbe mu Bwa kabaka bwa Buganda gyeziyina...
04/04/2023

Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga Atongoza ekitabo ekirambika butya Ennyimbe mu Bwa kabaka bwa Buganda gyeziyina okwabizibwa nga mu nkola eno mulimu okuuma ennono,Obuwangwa bwaffe ng`a Baganda. Mukuuma ddamula Bwabadde atongoza ekitabo kino ng`aliwamu n`Abataka abakulu b`obusolya akubirizza abakulembeze mu bika n`abalungamya b`emikolo egy`okwabya ennyimbe okunweza ennambika Abantu ba kabaka Bagigoberere era Bagitegeere. Omukubiriza w`olukiiko lw`abataka abakulu B`obusolya Omutaka w`e Kika ky`ekobe omutaka Augustine Kizito Mutumba. Asiimye ennambika y`okwabya ennyimbe Omutaka agamba nti bbo ng`abataka ennambika bagyetegereza bulungi ddala N`asaba Abataka bonna okugoberera nga bwe balambika abazzukulu bonna gyebali ennabika y`ennyimbe empya okugigoberera obulungi n`okugitegeera. Omukolo Gwetabiddwako Minisita W`obuwangwa ennono Owek: Kiwalabye Male ,Owek: Joseph Kawuuki Minista Omubezi Owa Gavumenti ez`ebitunddu. Omukolo gubadde Ku Bulange emengo.

Olwa leero  Nga 09/03/2023 Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga Atongoza Emisinde gy`amazaalibwa ga Kabaka Gya ku b...
09/03/2023

Olwa leero Nga 09/03/2023 Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga Atongoza Emisinde gy`amazaalibwa ga Kabaka Gya ku baawo nga 16/04/2023. Emisinde okugyetabamu nga bulijjyo emitwalo 20,000/= gyoka. Kamala byonna Mukiseera kyekimu Atongoza Akakiiko akanategeka omukolo gw`amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebbi II ag`emyaka 68 Akakiiko kakulirwa Owek: Devid Mpanga . amazaalibwa gano Gakubaawo nga 13/04/2023. abavujjirizi B`omulundi Guno Obwa Kabaka Bwa Buganda ,KAirtel Uganda, Vision Group, BBS Terefayina, CBS FM, Bukedde, UNAIDS n'abalala, Emisinde gino Emyaka Kumi(10) Nga wegiri emyaka ejyo gitambulide kumirambwa esatu(3) Ogusooka Nubiri(Sickle cell) Okutonya kwa Bakyala(Fistula) Mukenenya Siriimu,(HIV/AIDS).Awowona Nnyinimu Abadde agezaako Kumanyisa bantu be Kunsonga Z`ebyobulamu Mu Buganda ne uganda okutwalira awamu.

Olwa leero nga 28/02/203 Katikkiro Wa Buganda  Owek: Charles Peter Mayiga Atongoza Oluwalo olw`omwaka guno 2023. Abatand...
28/02/2023

Olwa leero nga 28/02/203 Katikkiro Wa Buganda Owek: Charles Peter Mayiga Atongoza Oluwalo olw`omwaka guno 2023. Abatandise n`omwaka Amaggombolola okuva e Buddu, Owek: Hon Medard Sseggona okuva e Busiro Abegattira mu kibiina Buganda Kwe kwaffe ,Mumusa High School okuva e Ssingo N`e Ssaza lya Kabaka okuva mu Amerika(USA) N`abantu ba Kabaka Abalala bangi Obukadde 34 N`omusobyo bwe buleteddwa. Katikkiro agamba nti oluwalo si nsimbi zoka Wabula mulimu n`okutegeeza Abantu ba kabaka ebintu ebikolebwa embuga era ensimbi bwezifunika ziyambako enteekateeka nga eya mmwanyi Terimba,ebyenjigiriza.eby`obulamu,ne birala bingi.
Abaasukkuluma ku bannaabwe basiimiddwa mu ngeri ez’enjawulo. Mu masaza, Kyaddondo lye lyasinga n’obukadde 224 mu 2022, so nga 2021 baakungaanya 142. Baweereddwa ssatifikeeti ezibasiima.

Mu ggombolola, Makindye Mut.III, Kyaddondo, ye yasinga n’obukadde 63 mu 2022, so mu 2021, baakungaanya obukadde 32. Baweereddwa Kkomputa.

Ssese, ly’essaza erisinze okwerwanako okusinziira ku muwendo gw’abantu nga baakunganyizza obukadde 17 mu 2022, so nga mu 2021, baakungaanya obukadde 15. Eggombolola Mut. II, Kalangala e Ssese, ye yasinga okwerwanako, nga baweereddwa pikipiki.

Enju ya Ssalongo Ssepiriya Mukasa, e Kasanje, Kabonera mu ggombolola Ssaabawaali Bukoto, Buddu, Katikkiro mwava, ye yasinga okulenta ensimbi ennyingi ku mutendera ogw’amaka n’akakadde kamu. Baweereddwa ejjinja eribasiima. okusomesa abaana baabwe.

President Wa National Unity Platform  (NUP) Hon Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) Akiise Embuga ne bannakibiina ba ...
31/01/2023

President Wa National Unity Platform (NUP) Hon Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) Akiise Embuga ne bannakibiina ba NUP, Owek:Mathias Mpuuga Nsamba, Hon: Muwanga Kivumbi n'abalala. Basisinkanye Katikkiro Wa Buganda ku Mbuga enkulu Bulange e Mengo Kamalabyonna Abagambye Nti Omuntuyenna Ng`akimanyi nti Kabaka Ye Kitaffe Wa deembe Okugya Wonna Wayagalira Naddala ng`asa mu Nnamulondo Ekitiibwa Wabula N`esonga Y`edeembe ly`obuntu,N`efuga egoberera Amateeka Omukulembeze W`ekibiina Kya NUP Mububaka Bwe Yebazizza Olw`okukiika embuga Kuba Kimukakatako.

Olwaleero Nga 24/01/2023 Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga Asisinkanye Ssaabakunzi Wa NRM Hon:Rosemary Ssennide ...
24/01/2023

Olwaleero Nga 24/01/2023 Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga Asisinkanye Ssaabakunzi Wa NRM Hon:Rosemary Ssennide Kumbuga enkulu e Bulange e Mmengo Mukuumaddamula Asabye Gavumenti Okuwagira Enteekateeka Z`obwa Kabaka ezitali zimu Naddala eziyamba Abantu bonna Kamalabyonna Akubiriza Gavumenti Ya NRM eri Mubuyiinza Okusa ekitiibwa Mu ddembe Ly`obuntu N`okusa ekitiibwa Mu Butonde bwensi N`okutambulira Mu nffuga egoberera Amateeka Ssaabakunzi w`ekibiina Ki NRM Yebazizza Obwakabaka Bwa Buganda Lw`okutumbula ensonga Z`eby`obulamu, ebyenjigiriza, eby`obulimi Nga mmwanyi Terimba ne Birala bingi ddala.

Olwaleero Nga 21/01/2023 Ekisaakate Kya Maama Nnabakereka  2023 Gatonnya Kikomekerezeddwa Kusomero lye Bayita Muzza  Hig...
21/01/2023

Olwaleero Nga 21/01/2023 Ekisaakate Kya Maama Nnabakereka 2023 Gatonnya Kikomekerezeddwa Kusomero lye Bayita Muzza High School Kabembe Mukono Ely`omukungu Muzanganda Mu Sseza ly`e Kyaggwe Abasaakaate Bakubiriziddwa Okusa munkola kwebyo byebayize Mukuuma Ddamula Abazadde Abakubiriza Okusigala nga Bayamba Ku Baana baabwe Byebayize Mu kisakaate Okubisa munkola Maama Nnabagereka abadewo ,Katikkiro Wa Buganda, Omubaka We Bungereza Atuula Mu Uganda Omumuka wa Katikkiro Ow`okubiri Owek:Waggwa Nsibirwa,Minisita Owek:Noah Kiyimba Owamawulire Olukiiko Era Omwogezi Owo Bwa Kabaka ,Ababaka Ba Palamenti,Abaami Ba Masaza Aba Magomolola,Abataka Abakulu Abobusolya Nga Bakulembeddwau Omutaka Namwama Abazadde Babaana, Nabalala Bangi.

26/12/2022

Ekirabo Kya Ssaabasajja Kabaka Ronald Mwenda Mutebi II Ekya Sekukkulu Okuva Mubayimbi Ba Ganda Boys Kinono Kitiibwa Kya Buganda Ekyayimbiddwa Abazungu Okwetoloola Mu Zisemaziinga Mukaaga(6) Kati Ekirindiriddwa Ssaabasajja Asiima Gafuuke Amakula Mwebale Nnyo Ba Ganda Boys.

Olwaleero Nga 02/11/2022 Omubaka wa Bungereza mu Uganda Gwebayita Kate Airey Akiise Embuga Ku Bulange e Mengo Mububakabw...
02/11/2022

Olwaleero Nga 02/11/2022 Omubaka wa Bungereza mu Uganda Gwebayita Kate Airey Akiise Embuga Ku Bulange e Mengo Mububakabwe Asuubizza Okunyweza Obwasseruganda Obwazimbibwa wakati w’Obwakabaka bwa Buganda N’obukulembeze Obw’ennono Obwa Bungereza.
Omubaka Kate Obubaka Buno Abwogedde Asisinkanye Kamalabyonna Kumbuga Enkkulu Ey`obwa Kabaka Bwa Buganda e Mmengo Mukuuma Ddamula Charles Peter Mayiga Yebazizza Omubaka Wa Bungereza Mu Uganda Olw`okugya Okwetegereza Engeri Obwakabaka Engeri Gye Bukolamu Emirimu Era Kamalabyonna Agamba Bogedde Butya Bwebayiinza Okubako Bwebayamba Omutu Wa Bulijjo Okumutuusako Obuwereza.

Olwaleero Nga 27/10/2022 Nnalulungi Wa Buganda Ne Uganda Az`ebmuga Okuwoza Olutabaalo Nnalulungi W`o mwaka 2022 Owa Buga...
27/10/2022

Olwaleero Nga 27/10/2022 Nnalulungi Wa Buganda Ne Uganda Az`ebmuga Okuwoza Olutabaalo Nnalulungi W`o mwaka 2022 Owa Buganda Ne Mu Uganda Yonna Kokuva Mubitunddu Ebirala Ebikola Uganda Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga Akubiriza Bannalulungi Obutabeera Balungi Kungulu Wabula Babeere Balungi Nemmunda Abantu Webatabalabira Asiimbuli Olugero Lwa Baganda Nti Ofuundda N`omubi Ng`azaala Ng`ayaniriza Nabagenyi Era Neyebazza Bannalulungi Okutuuka Kubuwanguzi Sydney Nabulya Kavuma Mububakabwe Yeyamye Okutwala Eby`obulambuzi Bya Buganda Ne Uganda Yonna Era Asuubizza Okuwangula Enggule Yempaka Z`obwannalulungi Mu Nsi Yonna.

Bassebo Ne Bannyabo Abooluganda Bannyinaze Ne Bagandabange Mwebale Nnyo Obubaka Bwemumpeereza Obw`amazaalibwa Gange Obuu...
20/10/2022

Bassebo Ne Bannyabo Abooluganda Bannyinaze Ne Bagandabange Mwebale Nnyo Obubaka Bwemumpeereza Obw`amazaalibwa Gange Obuungi Bwebuti Nsiimye Nnyo Wabula Bwekiri Batuukako Mu Ntegeeze Mu Bwangu Nange Ngya Kola Kyeekimu Nga Bwemukoze Olunaku Lwaleero Mmungu Nkusaba Obulamu Nga Bwempereza Abantu Bo Wamu Onyongera Okunungamya Mu Mumirimu Gyange. # KATONDA KUUMA KABAKA WAFFE.

Nze Tamale Henry Muzzukulu Wa Mugema  Eyeddira Enkima  Ndi Muganda  Olwaleero  Nga 20/10 ......  Maama Aida Bulya  Muzzu...
19/10/2022

Nze Tamale Henry Muzzukulu Wa Mugema Eyeddira Enkima Ndi Muganda Olwaleero Nga 20/10 ...... Maama Aida Bulya Muzzukulu Wa Mbaziira Ne Taata Andrew Munyami Muzzukulu Wa Mugema Abeebakiddi Eriingi Nebabikibwa Etonotono Lwelunaku Lwelunaku Lwe Banzaala.

Kitalo!!! Nnyo ekya Nnabakyaala We Bungereza Afudde Avudde Mubulamu Bwensi Eno.   Nnabakyaala Bwe Bungereza Abumazeeko E...
08/09/2022

Kitalo!!! Nnyo ekya Nnabakyaala We Bungereza Afudde Avudde Mubulamu Bwensi Eno. Nnabakyaala Bwe Bungereza Abumazeeko Emyaka 70 Era Ya Kyasinze Okuwangaala Ku Ntebbe Enen`eye Bungereza Eya Bajjajjabe. Tusaba Mukama Katonda Amulammuze Kisa. 08/09/2022.

Olwaleero Nga 07/09/2022 Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga Alambudde  Omulimu Gwa Muzibwazaala Mpanga Nga Bwe Gu...
07/09/2022

Olwaleero Nga 07/09/2022 Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga Alambudde Omulimu Gwa Muzibwazaala Mpanga Nga Bwe Gutuuse Oluvannyuma Lw`okuserekebwa Emyezi Egiyise Emabega Mukuuma Ddamula Agamba Nti Omulimu Gwa Muzibwazaala Mpannga Guwa Esuubi. Kamalabyona Asiimye Omulimu Ogukolebwa Katikkiro Akubirizza Abavubuka Abali Ku Mulimu Ogwa wabula Akayole Nti Bennyumirize Kulimu Gwebakola Baguyige Kuba Gwabyafaayo Elabalikinyumya Ebbangalyona.

Owaleero Nga 31/07/2022 Okujjukira Amatikkira Aga 29 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yeebazizza abantu be mu...
31/07/2022

Owaleero Nga 31/07/2022 Okujjukira Amatikkira Aga 29 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yeebazizza abantu be mu Buganda olw'okujjumbira Okulima Ekirime Ky`emmwanyi. Empalabwa bino abyogeredde mu Lubiri olw`e Mengo ku mukolo okw'okujjukira Amatikkira ge ogw'omulundi ogwa 29 Ssemunwa agambye nti kati waliwo obubonero obulaga nti Obuganda bujjumbidde okulima emmwanyi era n'amakungula geeyongedde Beene era yeebazizza n'abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo mu Buganda, awamu n'ebitundu ebirala abalwaniridde omuntu owaabulijjo naddala ku nsonga ekwata ku Bulimi Bw`emmwanyi Namuunswa agamba nti abantu b'edda bangi nnyo beenyumiriza mu kirime ky'emmwanyi ekyabayamba ennyo naddala mu ku somesa abaana baabwe.Awonno, asabye Gavumenti eyawakati okussaawo embeera eneesobozesa abeenyigidde mu Kulim Ekirime Kye Mmwanyi Omukolo Gwetabiddwako Nnabagereka Abaana Benngoma Abalangira Nabambejja Ba Katikkiro Abawumula Abataka Abakulu Abobusolya Ab`amasaza Abamagombolola Meeya Wekibuga Kampala Bannabyabufuzi NabalalaNamuunswa agamba nti abantu b'edda bangi nnyo beenyumiriza mu kirime ky'emmwanyi ekyabayamba ennyo naddala mu ku somesa abaana baabwe.Bangi. Ayi Katanda Kuuma Kabaka Waffe.

Rolls Royce Eyali Eya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II Mweyatambuliranga Mubiseerabye Nga Lambula Obuganda Wabula Yadizid...
18/07/2022

Rolls Royce Eyali Eya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II Mweyatambuliranga Mubiseerabye Nga Lambula Obuganda Wabula Yadiziddwa Bugya Era Nekwasibwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Kulunaku Lw`okujaguza Amazaalibwa Ge nga 17/07/2022 Mu Lubiri e Mengo.

Nga 13/04/2022 Luba Lunaku Lwa  Mazaalibwa Ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda  Mutebi II Olwe Kirwadde Ki Lumima Mawug...
17/07/2022

Nga 13/04/2022 Luba Lunaku Lwa Mazaalibwa Ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Olwe Kirwadde Ki Lumima Mawuggwe Tetwasobola Kujaguza Mazaalibwa Ga Kabaka Era Nnyinimu Yali Ageenzeeko Bulaya Mu Nsi Eya Bugirimaani Okulaba Ku Bantube Abawangaalira Emitala Wa Mayanja N`olw`eky`olwaleero Nga 17/07/2022 Tujaguza Amazaalibwa Ga Beene Okujjayo Amakulu G`amazaalibwa Oggumu Kimikolo Emikulu Mu Bwa Kabaka Bwa Buganda. Omukolo Gubadde Mu Lubiri e Mengo. Ssaasajja Kabaka asiimye musajjawe Gordon Balaba Wavamunno era amukwasizza ejjinja ery'Omuwendo ejjinja Eroy`omuwendo Lyali lya Kumukwasa Mu mazaalibwa Age 64 Mumwaka 2019 Endejje Mu Bulemeezi Omkungu Wavamunno Yali Mitala Wa Mayanja. Ssaabasajja Kabaka Ayanjuliddwa Emmotoka Ekika Ekya Rolls Royce Eyali Eya Ssekabaka Edward Muteesa II eyaziddwa obuggya! Omukungu Kiyimba Fee Man Aga Yabadde Ssentebe Womulimu Guno Ow`okujiza Ouggya.

Olw'aleero Nga 03/07/2022 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda  Mutebi II Asiimye Nalabikako Eri Obuganda Okusimbula Emisin...
03/07/2022

Olw'aleero Nga 03/07/2022 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asiimye Nalabikako Eri Obuganda Okusimbula Emisinde Gy`amazaalibwa Ge Ag`e 67 Oluvanyuma Olw`okumala Ebbanga Ery`emyaka Ebbiri (2) Abantu Ba Ssemunywa Nga Tebakungaana Olw`ekirwadde Ki Lumiima Mawuggwe.

Ayi Omuterega Kino Kiraga Nti Abantu bo Bawulize Eri Nnamulondo Emisinde gy`omwaka Guno Gitambulidde Ku Mulamwa Abaami Tulwanyise Mukenenya Tutaase Abaana Ab`obuwala.

Owek. Katikkiro Charles Peter Mayiga Akubiriza Abantu Ba Nnyinimu Okuba Obumu Mubulikintu Emisinde Gy`amazaalibwa Ga Kabaka Giwagiddwa Majesitic Brands, UNNAIDS,,Dfcu Banka Amazzi Olwendo, CBSfm, BBS Terefayina Airtel ,New Vision Group Abetabye Ku Misinde Ssenkulu Wa UNAIDS Hon Winnie Byanyima Owek: Prof. Twaha Kaawaase Kigongo Omulangira David Kintu Wasajja No Muzaana Nankya Baminisita Abamassaza Abakungu , Bajjaajja Abataka abobusolya Nabalala Omukolo Gubadde Mu Lubiri e Mmengo Ayi Katonda Kuuma Kabaka Waffe.

Ebbugumu Mu Bantu Ba Ssemunwa Lyeyongedde Nga Baggula Emijoozi Gitandise Okuggwaayo Emisindde Giri Mu Lubiri e Mengo Ku ...
30/06/2022

Ebbugumu Mu Bantu Ba Ssemunwa Lyeyongedde Nga Baggula Emijoozi Gitandise Okuggwaayo Emisindde Giri Mu Lubiri e Mengo Ku Sunday Eno Nga 03/06/2022 Emisindde Gy`amazaalibwa Ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Giwagiddwa Obwa Kabaka Bwa Buganda, Cbsfm,Bbs Terefayina, Majesitic Brands, Unaids, Dfcu Bank, Airtel , New Vision Group, Amazzi Go Olwenddo.

Ssebo Katikkiro Charles Peter Mayiga Mukama wange Mukuuma Ddamula Amazaalibwa Amalungi Webale Nnyo Okulamulirako Ssaabas...
29/06/2022

Ssebo Katikkiro Charles Peter Mayiga Mukama wange Mukuuma Ddamula Amazaalibwa Amalungi Webale Nnyo Okulamulirako Ssaabasajja Kabaka Obwa Kabaka Bwe Obulungi Bw`otyo.

Olwaleero Nga 25/06/2022 Kulwomukaaga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Empaka Z`omupiira Gw`amassaza Ga Bugan...
25/06/2022

Olwaleero Nga 25/06/2022 Kulwomukaaga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Empaka Z`omupiira Gw`amassaza Ga Buganda 18 Mu Ssaza Ly`e Buddu Ssaabasajja Kabaka Ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga , Minsita Owek: Henry Ssekabeembe Kiberu Ow`abavubuka Nokwewummuzaamu Ba Minisita Bakabaka Abaami Bamasaza Ababaka B`olukiiko Olukkulu Nnaabalala Omupiira Oggunyumidde Abalabi Batabani Ba Ppookino Na Ba Muteesa Katonda Bw`atyo Bwayagadde Kibe Bwekityo Mumaaso G`empologoma Ku Kisaawe Bannabuddu Kye Bayita Ku Liiku Omupiira Guwedde Maliri BUDDU 0_0 Mawogola Mukibuga Kya Ssaabasajja Kabaka e Masaka Ayi Katonda Kuuma Kabaka Waffe.

Leero Nga 11/06/2022 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muweda Mutebi II Asiimye N`aggulawo Omupiira Gw`bika By`abaganda Ku Kisaa...
11/06/2022

Leero Nga 11/06/2022 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muweda Mutebi II Asiimye N`aggulawo Omupiira Gw`bika By`abaganda Ku Kisaawe e Kasana Luweero Mu Ssaza Ly`e Bulemeezi Nga Ab`engo Bambalagana Nab`e Mbwa Ogusoose w`ogw`abakyala Embwa Ekubye Engo Obugoba 26 Ku 25 Omupiira Gw`abasajja Mu Gw`ebigere Engo Ekubye Embwa Ggoolo 4 Ku 2 Omulamba Bannabulemeezi Mwebale Kulaga Empologoma Esannyu Mwebale Ayi Beene Kabaka Waffe Wangaala.

03/06/2022

Olwa leelo Nga 03/06/2022 Okukuza olunaku LW'abjulizi Olw'Omwaka Gino eNamugongo Olukuzibwa Buli Nga/ 03/06 Bulimwaka Wabula Olwekirwadde Kirumiima Mawugge Okulamaga kubadde Kumaze Emyaka dabiri Okuva 2019 Ekitambiro Ke Mmisa Kikulembeddwamu Omusumba Robert Muliirwa Okuva M***a lye Fort Portal Ssaabaminsita Robinah Nabbanja Yeyetisse Obubaka Bwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Omukubiriza W'okiiko Lweggwanga Olukulu Anita Amongo naye Abadeyo Omukule Meze Owoludda Oluvuganya Mu Palament Owek: Mathias Muuga Nsamba Ababka Palament Eyali Omumuka Wa Pulezidenti Ssekandi ,Omukama Watooro Katikkiro Wabusoga ,Katikkiro Wa Buganda Eyawumula Owek:Hng Jb Walusimi , Ssentebe We Wakiso Matiya Lwanga Bwanika , Owek:Ssebwana Chelsea Kiberu Kisiriza Nabakulembeze Abalala Kumitenddera Egyenjawulo Nabala Bwebityo Bwebibadde Kuludda Ow'abakatoliki e Namugongo Ebifaananyi Byebyo Wamanga Bya Tamale H 📷📷

Enkya Ya leero Katikkiro Charles Peter Mayiga Atongoza Emipiira Gy`e Bika Byabaganda Mu Bimuli Bya Bulange e Mengo  Ssaa...
31/05/2022

Enkya Ya leero Katikkiro Charles Peter Mayiga Atongoza Emipiira Gy`e Bika Byabaganda Mu Bimuli Bya Bulange e Mengo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asiimye Okulabikako Eli Abantu Be Okuggulawo Emipiira Gy`ebika By`abaganda Engo Nga Eyambalagana N`embwa Mu Ssaza Ly`e Bulemeezi Nga 11 Ssebaaseka 2022 Ku Kisaawe Eky`ekasana Luweero Mu Bulemeezi Eyama Kino Katikkiro Ya Kyasangguza BY'EMIPIIRA GY'EBIKA* *2022*

*GROUP A*
1. Mpindi
2. Butiko
3. Musu
*4. Kasimba*
5. Kiwere
6. Lukato

*GROUP B*
1. Nkima
2. Balangira
3. Ntalaganya
4. Kakoboza
5. Kinyomo
6. Nvuma

*GROUP Ç*
1. Ffumbe
2. Nkerebwe
3. Musagi
4. Nkula
5. Ndiisa
6. Ndiga

*GROUP D*
1. Nsenene
2. Gabunga
3. Ngonge
4. Nsambya
5. Kisasi
6. Kasanke

*GROUP E*
1. Mbogo
2. Njovu
3. Njobe
4. Nvubu
5. Nkejje
6. Nyunga

*GROUP F*
1. Nakinsige
2. Mpeewo
3. Lugave
4. Ngali
5. Kibe
6. Muyanja

*GROUP G*
1. Nte
2. Nkusu
3. Njaza
4. Nsuma
5. Mbwa
6. Nyange

*GROUP H*
1. Kkobe
2. Ngo
3. Ngeye
4. Namungona
5. Mpologoma
6. Kayozi

Oksabira Obugada ne Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwanda Mutebi II Abyetabye Mukusaba Kuno Omulangira Devid Kintu Wasajja, ...
24/05/2022

Oksabira Obugada ne Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwanda Mutebi II Abyetabye Mukusaba Kuno Omulangira Devid Kintu Wasajja, Ssaabalangira Musannjye, Owek: Kiwalabye Male Owek:Nowh Kiyimba Omukubiriza Olukiiko Lwa Buganda Owek: Patrick Luwaga Mugumbule Nga Yakiikiridde Katikkiro Bakatikkiro Abaawummula Owek: Mulwanyammuli Ssemwogerere Ne Owek: Dan Muliika Naabalala Bebamu Kubeetabye Mu Kusaba e Namirembe Mu Kujjukira Olunaku Kawenkene Obote Lwe Yalumba Olubiri Lwa Ssekabaka Edward Fredrick Luwangu Walugembe Muteesa II Olw`e Mengo Nga 24/05/1966 Olwaleero Giweze emyaka 56 Bukyanga Bulumbaganyi Buno Bukolebwa Ku Bwa Kabaka Bwa Buganda.24/05/2022

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asiimye Nalabikako Eri Obuganda Ng`aggalawo Ttabamiruka Wabakyala Mu Lubiri ...
13/05/2022

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asiimye Nalabikako Eri Obuganda Ng`aggalawo Ttabamiruka Wabakyala Mu Lubiri e Mengo Asiimye Abakyala Olwe Mirimu gyebakola Wa Mu Nokusomesa Abaana Abobuwala Maama Nnab agereka Yeyagguddewo Ttabamiruka Ow`omwaka gguno Ttabamiruka Atambulidde Ku Mulamwa Omukyala Omulamu Obulungi Gwe Musingi Gw`obuyiiya n`Enkulaakulana eya Namaddala Owaka 13/05/2022. 📸📷Tamale H.

Yogaayoga Owekitiibwa Ennyo Katikkiro  Charles Peter Mayiga Okutuuka Ku Myaka Omwenda (09) Nga Okutte Ddamula webale Oku...
12/05/2022

Yogaayoga Owekitiibwa Ennyo Katikkiro Charles Peter Mayiga Okutuuka Ku Myaka Omwenda (09) Nga Okutte Ddamula webale Okulakulanya Obuganda Wamu Ne Uganda Okutwalira Awamu Tukwagaliza Birungi Byerere Ssebo Webale.

Adresse

Mengo
Kampala

Téléphone

+256771820832

Site Web

Notifications

Soyez le premier à savoir et laissez-nous vous envoyer un courriel lorsque Tamale Buganda news updates publie des nouvelles et des promotions. Votre adresse e-mail ne sera pas utilisée à d'autres fins, et vous pouvez vous désabonner à tout moment.

Vidéos

Partager

Type