DEEP HEALING MEDITATION
This video contains deep healing meditation music
Acting challenge with #elianaghen
This is an Acting challenge. Enjoy it
ZINUNULA AUDIO BOOK PART 5
Kaamulali Komunaku gwe yansibirira ye yatutaasa okuserengeta e Magombe
ABAMBOWA ba Ndodooti abaali batutwala mu ttambiro okututta, bwe twatuuka mu masaŋŋanzira, omu ku bo n’asumulula ensawo yange kazzi n’ettu lya mmula wange mwannyinaze Komunaku gwe yansibirira, lyasumulukuse dda, mmula asaasaanidde mu nsawo yonna. Bwe yali aggyamu ebintu kinnakimu, mmula n’amusensera mu nnyindo anti emyasi ne gitta egy’okumukumu, amaziga jjulujjulu, eminyira nnyirinnyiri, munne bwe yamusemberera alabe ekimwasimuza, naye n’assa okwo. Omumbowa oli eyasooka okusumulula ensawo yali yeesangula amaziga, kaamulali n’amugenda mu maaso. Naye bwe yayimba okubalagalwa n’okusonsomolwa wamma ennamusa n’etuuka ku nnyooge. Baalwa edda ne baŋŋamba mbannyonnyole nga bwe guli, ye munnange Mikolo eyali omwangu okusinga kwe kubaanukula nti, ‘Bassebo nno mufudde bufi anti mujja kubeerera ddala bwe mutyo okutuusa olukuusi lwe lulibaggweerako.
ZINUNULA OMUNAKU PART 1
#Obutobwange KABANYUMILE MIKWANO
Nkaluubirirwa okujjukira byonna ebyandiko mu buto bwange ,omanyi nnayanguwa
okwetengerera kuba nnayavula mate ,naye mbu mba ntandika okujja nti akagere mmange n'afa
awo nendekebwa awo mulekwa era enfuuzi mu mikono gya bajjajja bange abakulu abamuzaala.
Taata yye teyankubako na mmunye ye .
ZINUNULA OMUNAKU PART 4
#AbeBulyambwaBatusaliraOgwokufa
ZINUNULA PART 4
https://youtu.be/_MxJLSZ_3Yc
BWE twawona embogo, twasisinkana abasajja basatu ne tugenda nabo era ne batunyumiza bingi ku nsi Bulyambwa. Abantu b’omu nsi eyo gye twayingira akawungeezi baali ba kisa kingi bulala anti buli we twatuukanga nga batuwa emmere ya buwa era nga batulagirira n’emigiini egy’okusulamu. Nga wayise ennaku ttaano bukya tutuuka mu Bulyambwa, twali tutambulatambula okumpi n’omujiini mwe twali tusula, ne tugwa mu tteeka ly’Omwami Ndodooti. E Bulyambwa abaami baayo nga balina obuyinza bungi, buli omu ng’anaatera kuba kyetwala era abalala nga bakyewaggula ddala. Mu bo nga Ndodooti y’akulembera. Twagwa bwe tuti mu tteeka lye.
ZINUNULA OMUNAKU PART 2
#Nnetonnyamunsi
EBIGAMBO bisirikitu ddala ebyawambira ne bisimba amakanda era ne bitebenkera mu mmeeme yange, nga biva mu ebyo jjajjange bye yannombojjera, ebyaliwo mu kuzaalibwa kwange.
https://youtu.be/_zx8sQo2xPw
Long Time #challenge
#longtime #challenge Maulana and Reign ft Bettina